Amawulire

Kaweefube wa Maama Nnaabagereka ow'okulwanyisa omugejjo atandise na maanyi

NNAABAGEREKA kaweefube w’okutaasa abatawanyizibwa obulwadde bw’omutwe gweyakatongoza amutandise n’amaanyi abantu bwebatandise okutuukirira ekitongole okuwa obujjulizi ku ebyo byebayitamu.

Nabatanzi Margeret nga'leese omwana we e Mmengo etawaanyizibwa omugejjo
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

NNAABAGEREKA kaweefube w’okutaasa abatawanyizibwa obulwadde bw’omutwe gweyakatongoza amutandise n’amaanyi abantu bwebatandise okutuukirira ekitongole okuwa obujjulizi ku ebyo byebayitamu.

Ku Lwokubiri,aba Nnaabagereka Fund abali mu kaweefube ono baakyazizza e Bulange-Mmengo Omukyala Margaret Nabatanzi ng’ono ye nnyina w’omwana Joel Mwanja,12 ng’ono atawanyizibwa obulwadde bw’omugejjo nga kimuviriddeko ebizibu bingi eby’omu bwongo.

Nabatanzi yategeezezza nti mutabani we ono alina kkiro 177 kyokka ng’emabegako baalwanye naggyako kkiro ttaano era obujjanjabi bwaliko bwetaaga obukadde bubiri buli wiiki kyokka nga yekka yaali mu bulamu bw’omwana ono.

“Olw’embeera gyalimu afuna okusomoozebw okw’enjawulo okuli okuyeyeezebwa, okuvumwa n’ebirala okuyita ku mutimbagano n’abantu abamulaba. Kino tekimuleka ky’ekimu mu birowoozo,” Nabatanzi bweyanyumizza.

Minisita w’ebyobulamu mu Buganda era avunanyizibwa ku ofiisi ya Nnaabagereka,Cotlida Nakate Kikomeko yasabye abantu okukomya omuze gwakuboola n`okusosola bannaabwe olw’ekikula kyabwe kubanga kino bwekinagenda mu maaso,endwadde z’emutwe zakweyongera.

Nakate yagambye nti Nnaabagereka Fund yakuyamba ku kubudabuda Mwanja n’okukubakuba ku bannamukago baayo okuli I&M bank, Minisitule y’ebyobulamu eya Uganda n’abalala okumufunira obuyambi.

Mu ngeri y’emu ekitongole kino kyajaguza olunaku lw’ensi yonna olwefumitiriza ku nsonga bulamu bw’abakyala obuyonjo bwebabeera bagenze mu nsonga zaabwe era basse omukago ne kkampuni ya Shuya sanitary napkis.

Aba Shuya baakwasizza aba Nnaabagereka Fund paadi 480 ng’omuteeko ogusooka mu nkolagana yaabwe. Zino zigenda kugabirwa abawala abatalina busobozi bw’okuzifuna era nebagamba baakwongera okuwaayo paadi eri abawala.

Joy Zizinga nga ye mwogezi wa NF yategezezza nti ekiseera ky’okugenda mu nsonga kisomooza nnyo abakyala era nga bazudde abakyala bangi batawanyizibwa endwadde z’omutwe olw’embeera eno