ABATAKA beeronzeemu bannaabwe basatu bagende e Namibia okulaba embeera Kabaka mw’ali ate n’okuddiza bazzukulu baabwe amawulire agamukwatako.
Abaalondeddwa bakiikirire bannaabwe kuliko Omukubiriza w’olukiiko luno, Augustine Kizito Mutumba Namwama nga y’akulira ekika ky’Ekkobe, Omutaka Sheba Kakande Kibirige Kasujja akulira ekika ky’Engeye n’Omutaka Batuuka Kizito Kafumu ow’ekika ky’Akayozi.
Bino byatuukiddwaako mu lukiiko lwabwe olwabaddewo wiiki ewedde nga May 30,2024 e Bulange - Mmengo.
Abataka bangi baagambye nti kibakakatako nga bbo okulinnya ennyonyi okugenda okulaba ku Mukama waabwe Kabaka, e Namibia gy’ali.
Omukubiriza w’olukikko lwabwe, Omutaka Namwama era omukulu w’ekika ky’Ekkobe yabawadde amawulre agakwata ku mbeera ya Kabaka nga Katikkiro bw’azze annyonnyola, ne bagamba nti ebyo babiwulidde bulungi nti naye nabo ng’essiga ekkulu, mu Buganda kyabuvunaanyizibwa okwesitula bagende balabe ku Kabaka.
Mu kwogera kwa Katikkiro, yagamba nti Kabaka yagenda e Bulaaya okwongera okwekebejjebwa abasawo be era alikomawo ng’abasawo balabye nti ddala ali mu mbeera entuufu.
Katikkiro era gye buvuddeko yategeezezza Obuganda nti Ssaabasajja ali mu Namibia gy’awummulidde ng’akyagoberera enteekateeka z’abasawo ez’okujjanjabibwa nti ekiseera ekituufu bwe kinaaba kituuse abasawo bajja kumuwa amagezi ag’okudda ku butaka.
Ensonga eno yayogeddwaako Omutaka Kyaddondo, Wooyo, Muteesasira, Walusimbi n’abalala ne babeerako bye baggusa mu lukiiko luno bonna nga beebuuza bakoze batya okumanya ekituufu ekiri ku Kabaka.
Olukiiko lwasazeewo kulonda abataka, beesitule bagende e Namibia Kabaka gy’ali kati, bamulabeko.
BATEMA MPENDA ZA KUFUNA OBUKADDE 40
Wabula ekibuuzo kyaleeteddwa nga kyebuuza nti bagenda kutuukayo batya, ensimbi ezibatwala zigenda kufunibwa zitya?
1 Omu ku bataka yateesezza nti Namwama n’olukiiko lwe olukulembeze olw’Abataka basaanye bawandiikire eggwanika lya Buganda, libawe ensimbi ezibatambuza mu lugendo luno.
2 Wabula Namwama yagambye nti eky’okugwa ku ggwanika libawe ssente mu budde buno kiyinza okuba ekizibu bwatyo n’ateesa nti ebika bisaanye binoonye ssente zino ezinaatambuza Abataka.
3 Baagenze okukubamu ekibalo ng’olugendo luno lwetaaga obukadde 40 era ne kisalibwawo nti buli kika kisonde akakadde kamu okutambuza Abataka.
4 Okutuukiriza kino, beewadde wiiki bbiri nga buli kimu kimaliriziddwa. Okutandika n’Olwokubiri June 4, 2024 okusonda ensimbi mu bika ebimu kwabadde kulina okuba nga kutandise.
5 Omulimu gw’okujjukiza Abataka ku kuleeta ensimbi zino, gwakwasiddwa Omutaka Muteesasira Keeya Namuyimba akulira ekika ky’Engo.
Bukedde era yategeezeddwa nti olukiiko lwayabuse waliwo ebintu ebirala bingi bye baasazeewo okusigala nga beewuunaganyako
Omwogezi w’Obwakabaka annyonnyodde
Minisita w’amawulire, okukunga abantu era omwogezi w’Obwakabaka, Israel Kazibwe bwe yabuuziddwa ku nsonga zino yategeezezza nga bw’atayinza kwogera ku nsonga zino kubanga bakyaziteesaako ng’era tebannazanjulira bukulembeze bw’Obwakabaka.
Ate Omutaka Namwama bwe yakubiddwa essimu, yategeezezza nti kituufu ekiteeso ekyo kyajja mu lukiiko lwabwe kyokka wakyaliwo bingi ebikyetegerezebwa ku ngeri olugendo luno bwe luyinza okutambula.
Okuva March 21, 2024, Kabaka lwe yagenda e Bugirimaani okulaba abasawo be, entambula ze zaddamu okumanyibwa nga May 13, 2024 ekifaananyi lwe kyayitingana ku mutimbagano gwa yintaneti nga Kabaka abuuza ku muganda we Omulangira Joseph Ndawula nga ye mubaka wa Uganda e Namibia.
Mmengo yavaayo n’ekakasa nti kituufu Kabaka ali mu ggwanga eryo gy’ali mu kuwummulako ng’abasawo bwe baamulagira.
Ku ntandikwa ya wiiki eno, Omulangira David Wasajja yayogedde ku mbeera ya Kabaka, n’akakasa ebyayogerwa Katikkiro era n’asaba abantu okussa ekitiibwa mu bulamu n’embeera za Kabaka nga beewala obutamala gabwogerako