Omulamuzi asonyiye eyakwata muganzi we akatambi nga bali mu kikolwa n’akasaasanya ku yintaneeti

Jun 19, 2024

"Nsaba kunsonyiwa ssebo, nnali njagala ssente ate nga ggwe wampa ssente entono," Nakakaawa bwe yategeezezza muganzi we.

NewVision Reporter
@NewVision

EYAKWATA muganzi we akatambi nga bali mu kikolwa eky'omukwano awonye okufuuyibwa empewo y’e Luzira kkooti bw'etaawuludde ensonga zaabwe ne beesonyiwagana.

Kino kiddiridde kkooti ng’ekulembeddwa omulamuzi ku Buganda Road, Ronald Kayizzi okusomera Jazira Nakakawa 20, omusango gw'okukozesa obubi essimu ye bwe yasaasaanya akatambi nga bali mu kikolwa.

Jazira Nakakawa Nga Yetoonda Bwe Yabadde Mu Kaguli Ka Kkooti.

Jazira Nakakawa Nga Yetoonda Bwe Yabadde Mu Kaguli Ka Kkooti.

Nakakawa yakwatibwa n'atwalibwa ku limanda e Luzira gy'abadde yaakeebaka ebbanga lya nnaku ttaano wabula ono w’akomeddewo asabye okusonyibwa eri omwagalwa we. 

"Nsaba kunsonyiwa ssebo kuba ekyo nakikola nga njagala ssente ate nange nga omuntu nali nyizeemu kuba wampa ssente ntono" Nakakawa bwe yategezeezza. 

Emisango egyamuggulwako giri ebiri nga ogusooka gwaliwo wa 2023 ne April wa 2024 mu Kampala. Kigambibwa nti yakwata akataambi nga bali ne Fred Ssembogga mu kikolwa nga talina lukusa, ekintu ekikontana n'amateeka ga gavumenti ya Uganda. 

Omusango omulala yagezaako okufuna ssente obukadde 5 n'ekigenderwa eky'okumutiisatiisa okufulumya akatambi ke yamukwata nga bali mu kikolwa eky’omukwano. 

Omulamuzi amuggyeeko emisango n'amulabula obutaddamu kwenyigira mu bikolwa bimenya mateeka. 

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});