OLUDDA oluwabula gavumenti mu palamenti lwagala abakungu ba gavumenti mu zi ofiisi z’ebyettaka abazze bagabira abantu ebyapa kw’ossa n’aba NEMA bavunaanibwe olw’okwebakira ku mirimu olwo entobazzi ne zisendako abantu okumala emyaka ate n’abalala ne babamenyera amayumba gaabwe.

Nakimwero ne Ssebunya nga bannyonnyola.
Minisita ow’ekisiikirize avuvaanyizibwa ku butonde bw’ensi era nga ye mubaka omukyala ow’e Kiboga, Christine Kaaya Nakimwero agambye nti gavumenti ekoze omulimu mu kukwata abalyake naye n’abakugu mu ofiisi z’ettaka nabo basaanye okubakubamu ttooci nti baawa abamu ku bantu ababadde bawangaalira mu lubigi ebyapa nga kati bagobeddwa awatali kuliyirirwa.
Ategeezezza nga bwe waliwo ebyapa ebiwerera ddala 1,000 ebyaweebwa abantu abawangaalira mu ntobazzi okuviira ddala mu 1995 nti amateeka gazze galongoosebwa nga kati abaasangibwawo tebalina bwenkanya mu kadde kano.
Akukkulumidde gavumenti olw’okusenda abatuuze mu Lubigi awatali kusooka kuliyirirwa ng’ayagala abalina ebyapa byabwe bafune obwenkanya.
Ye omubaka wa Nakaseke Central Allan Mayanja Ssebunya asabye NEMA okuyigira ku kitongole kya UNRA eky’ebyenguudo okuteeka obupande ku buli ttaka gavumenti ly’erina okukuuma.
Mayanja era agamba nti abantu abali mu maziga kati buvunaanyizibwa bwa buli mukulembeze, kubanga balina okubalwanirira ate nga n’obutonde bulina okukuumibwa nga entobazzi, ebifo omusimwa eby’obugagga n’ebibira baleme kulindanga bantu kusendako ate babafuumuuleko.