Batongozza 'Rotary Club of Kanyanya' ne basaba bammemba okukola ku bizibu ebiruma abantu

AB’e Kanyanya batongozza Rotary Club ne n'okwanjulira bammemba pulezidenti waabwe asoose.

Batongozza 'Rotary Club of Kanyanya' ne basaba bammemba okukola ku bizibu ebiruma abantu
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Kanyanya Rorary Club

AB’e Kanyanya batongozza Rotary Club ne n'okwanjulira bammemba pulezidenti waabwe asoose.

Omukolo gw’okutongoza Kanyanya Rotary Club gw’abadde ku Greenfield Gardens e Kanyanya mu munisipaali y'e Kawempe nga gwakoleddwa Edward Kakembo Nsubuga, pulezidenti wa Rotary mu ggwanga  eyalayizza Ronald Mark Ngobya Mukasa ku bwapulezidenti wa Kanyanya Rotary Club asookedde ddala.

Edward Kakembo Nsubuga, akulira Rotary Mu Ggwanga Ku (kkono)  Ng'akwasa Ronald Mark Ngobya Mukasa Satifiketi

Edward Kakembo Nsubuga, akulira Rotary Mu Ggwanga Ku (kkono) Ng'akwasa Ronald Mark Ngobya Mukasa Satifiketi

Moses Ssebaggala Akutte Akazindaalo Ng'annyonnyola Engeri Gye Baatandikamu Lotale Y'e Kanyanya.

Moses Ssebaggala Akutte Akazindaalo Ng'annyonnyola Engeri Gye Baatandikamu Lotale Y'e Kanyanya.

Kakembo  mu kwogera kwe, Ngobya yagambye nti baatandika batono naye kati omuwendo gulinnye kati baweza bammemba 45 ng’omwaka guno we gunaggwerako bajja kuba beeyongeddeko, bw'atyo n'akunga abandyagadde okufuuka bammemba okubeegattako kuba oluggi luggule.

Yategeezezza nti omulamwa gw'okukola ku bizibu ebiruma abantu mu kitundu kwe batambulira omuli okubazimbira amasomero, okubafunira amazzi amayonjo , eby’obulamu n’ebirala.

Kakembo yakuutidde Ngobya okufaayo ennyo okulaba  ng’akolagana n’abakulembeze mu bitundu saako n’abatuuze nga kino kijja kuyamba nnyo Rotary Club y'e Kanyanya okugenda mu maaso nga bayamba  awali obwetaavu.

Okuva Ku (kkono) Teo Ngobya, Ngobya ,Edward Kakembo Nsubuga,  Akulira Rotary Mu Ggwanga , Anne Nkutu Agenda Okumuddira Mu Bigere N'asemba Ku (ddyo) Can. Alice Ddamulira, Nnannyini St. Marks Namagoma

Okuva Ku (kkono) Teo Ngobya, Ngobya ,Edward Kakembo Nsubuga, Akulira Rotary Mu Ggwanga , Anne Nkutu Agenda Okumuddira Mu Bigere N'asemba Ku (ddyo) Can. Alice Ddamulira, Nnannyini St. Marks Namagoma

Edward Kakembo Nsubuga  Akulira Rotary Mu Ggwanga Ku ( Ddyo)  Ng'akakasa Geoffrey Kulubya Ku Bwammemba Bwa Rotary Y'e Kanyanya

Edward Kakembo Nsubuga Akulira Rotary Mu Ggwanga Ku ( Ddyo) Ng'akakasa Geoffrey Kulubya Ku Bwammemba Bwa Rotary Y'e Kanyanya

Omukolo guno gwetabiddwaako bannabyabufuzi , bannaddiini , abakungu mu Gavumenti ya wakati ne Mmengo  okwabadde; Latif Ssebaggala , Emmanuel Sserunjogi Mmeeya we Kawempe , Rev Canon Rocky Ssendegeya; atwala obusumba bw'e Kanyanya , Canon  Alice Ddamulira nnannyini masomero ga Marks Colleges Namagoma , omubuulizi Isaac Mwesigwa owa St. Johns Kanyanya , Fredrick Kitandwe pulezidenti wa Rotary y'e Kanyanya ,Anne Nkutu agenda okudda ku bwa pulezidenti bwa Rotary muggwanga n’abalala.

Geoffrey Kulubya omu bali ku kakiiko ka Rotary Club y'e Kanyanya yasiimye Kakembo olw’okukulembera obulungi bannalotale mu ggwanga n’asaba abantu okubeeyungako basoboole okuyamba abantu.