POLIISI ekubye omukka ogubalagala mu bagoberezi ba Nabbi Bright Muyingo ababadde bagezaako okulemesa ekitongole Kya NEMA okumenyawo Church eyazimbibwa mu Lubigi
Abasirikale nga balawuna ekifo kya Lubigi
NEMA etuuse mu kifo esanze Nabbi Bright ali n'endiga ze bali mu kusaba ne bayingira ne babalagira okwamuka ekifo kino era baggyemu ebintu byabwe mu bwangu ddala abagoberezi kyebawakanyizza ekiviiriddeko Poliisi okubakubamu omukka okubagugumbula