Aba Our Lady of Africa Secondary School Bawangudde empaka z’essaala n’ennyimba z’eddiini

Jun 26, 2024

Abayizi ba Our Lady of Africa Secondary School Mukono/Namilyango bawangudde empaka z’okuyimba n’okuzannya emizannyo egy’esigamye ku ssaala za Klezia Katolika ezitegekebwa ab’ekitongole kya Holy Cross Family Ministries ekirina ekitebe ky’akyo e Nsambya.  Empaka zino zaayindidde mu Sharing Youth Centre e Nsambya ku Lwomukaaga. Zaatambulidde ku mulamwa ogugamba nti: Geezaako Essaala, Mazima Ddala Zikola.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision

Aba Our Lady of Africa SS baakukumbye ebikopo byonna okwabadde eky’okuyimba oluyimba lwebeeyiiyirizza, eky’okutontoma, eky’okuzannya emizannyo, n’ekyokuwandiika embxoozi. Baawangudde n’obubonero 230.

Baddiriddwa aba St Kizito Secondary School Bugoloobi abaafunye obubonero 223. Aba Our Lady Queen of Africa Girls SS Rubaga baabadde 3 n’obubonero 178 ate aba St Charles Lwanga International School Kakiri nebakwata kyakuna.

Abaana nga bajaganya olw'okuwangula ekikopo

Abaana nga bajaganya olw'okuwangula ekikopo

Amasomero amalala ageetabye mu mpaka zino kwabaddeko Trinity College Nabbingo, St Maria Goretti SS Katende, St Francis Nsambya Hospital Training School, Stena Hill School Lukuli-Nanganda, Tropical High School Kabalagala, St Joseph’s SSS Naggalama, Mount St Mary’s College Namagunga, ne Kisubi Mapeera SS.

Dayirekita wa Holy Cross Family Ministries mu mawanga g’Obugwajuba bw’Africa, Faaza John Baptist Nsubuga y’ategeezezza ni baatekawo empaka zino okuyamba abayizi okwongera okunnyikira Eddiini, n’okutegeera ebya Katonda mungeri esingawo. Yeebazizza nnyo amasomero ageetabye mu mpaka n’asaba agabadde tegannazijjumbira nago galowooze kuuky’okuzeetabamu.

Abayizi abaakoze obulungi okukira kubannaabwe baaweereddwa ebirabo. Emizannyo n’ennyimba by’atambulidde kumulamwa ogugamba nti: Famire Etamulira ku Ukaristia

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});