Eddy Kenzo atenderezza technology ayoleseddwa mu mwoleso gwa Bride and Groom

OMUYIMBI era Pulezidenti wa fedeleeson y’abayimbi, Edrisa Musuuza amanyiddwa nga Eddy Kenzo akyaddeko mu mwoleso gwa Bride & Groom Expo 2024, n’asiima by’asanzeeyo.

Kenzo ng'anyumyamu n'akulira Vision Group Don Wanyama
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

By Willy Semmanda

OMUYIMBI era Pulezidenti wa fedeleeson y’abayimbi, Edrisa Musuuza amanyiddwa nga Eddy Kenzo akyaddeko mu mwoleso gwa Bride & Groom Expo 2024, n’asiima by’asanzeeyo.
Kenzo yakyaddeko mu mwoleso  akawungeezi k’Olwokutaano n’alambula emidaala egy’enjawulo n’eno aboolesi n’abazze okulaba ebyolesebwa bwe bamukubira obuluulu okumulaga obwagazi n’obuwagizi.

Don Wanyama ng'ali ne Kenzo mu mwolesogwa Bride and Groom

Don Wanyama ng'ali ne Kenzo mu mwolesogwa Bride and Groom

Kenzo yakooowodde abantu bonna okujja beerabire ku bintu enjolo ebiri mu mwoleso guno ebijjudde obuvumbuzi, tekinologiya n’ebipya bingi ebitabadde bya bulijjo.
Bride and Groom Expo ow’omwaka guno y’ow’omulundi ogw’e 15 ng’awagiddwa aba Penny Bold Bridals, Fragolino, The Looks Bespoke, Crown bottling Company (Pepsi), ne Uganda Breweries nga bali wamu ne Uganda Airlines, Café Javas, Signature Jewellery, Kenya Tourism board Marasa Africa ne Sheraton Hotel.