OMUYIMBI Eddy Kenzo yafukamidde mu maaso ga Minisita Phiona Nyamutooro gw’alabidde emyaka ng’esat gyokka n’amusaba obufumbo ekintu ky’ataakola ku Rema
gwe yamala naye emyaka egisukka mu musanvu. Mu kikolwa kino, Eddy Kenzo yabadde ng’akakasa minisita Nyamutooro nti ddala ye si muyembe nti bagulinda kwengera okugunoga oba nti ye paapaali lye balinda okubuulukuka baliwanule. Rema Namakula ng’aboyaana ne Laavu ennyingi gye yalina eri Kenzo, yalaajanira obufumbo mu luyimba olwo olwa 2018 n’atuuka n’okujuliza abasajja abamwesibako mu katundu ke yayimba nti;Wadde oluvannyuma Rema yabibuzaabuza nti ye yali tayimba ku Kenzo, ebyaliwo mu budde obwo kye byali bitegeeza.
N’okukiraga mu lwatu nti ali mu mukwano ne Dr. Hamza Ssebunnya mu August wa2019 nga Rema afulumizza kkaadi y’okwanjula, kyali kiraga bwe yali yafuna edda obutakkaanya ne Kenzo ne yeyiiya ng’enjogera bw’eri.
Jukira ne mu luyimba lwa Deep in love (wadde lwa dda nga tetunnamanya butabankugo
Rema bwe yalimu na Kenzo), Rema yayimba nti abantu baakutandika kumuyita mukyala dokita nti gw’aliba afumbidwa bw’anaaba nga dokita.
Abawagizi be bwe baalaba ng’ate kituufu afumbiddwa Dr. Hamza Ssebunnya nakyo
ne bakigattako nti byonna yali abikola alaajana nti waliwo ‘abamuli ku ttaya’ kyokka nga Kenzo amugazaagaza bugazaagaza ng’enjogera y’abasajja abakwana bw’eri.
Bwe baayawukana mu butongole omwaka ogwo, Kenzo yategeeza Rema bwe yali amuvuga sipiidi mu bintu ebimu omuli n’okukola emikolo kyokka nga ye kaana ka mbaata alowooza ku bya kusooka kwezimba banyweze emmaali bakole embaga kubanga ye (Kenzo) alina ab’enganda batono ddala ky’ava yeeyita kaana ka mbaata.
Nga bwe bagamba nti, ajjanjaba omulwadde si y’amusikira ndowooza kye tuba tukozesa mu mbeera eyabaddewo ku Lwomukaaga Kenzo bwe yakyadde mu bazadde ba
Nyamutooro n’amusaba amuwase n’amuteekako n’akaweta ng’amufukaamiridde.
Bwe kibeera nga luli Kenzoteyalinaamu ‘ttooke’ liwera nga bwe yategeeza ekitegeeza nti teyalina ssente, we zijjidde ate nga Rema yagenda dda.
ENGERI EMIKOLO BWE GYABUZAABUZIZZA ABANTU
Lwabade Lwakutaano akawungeezi Kenzo bwe yabadde mu mikolo gya Bride and Groom egya Vision Group evunaanyizibwa ku Bukedde famire e Lugogo era eyo ow’olugambo omu gye yalumpeeredde nti emikolo gyengedde nange ne ntandika okufeffetta kubanga teyangambye bingi.
Yasoose kung’amba Munyonyo kyokka ku Lwomukaaga n’agamba nti giri Buziga mu maka g’omu ku banene mu Gavumenti n’andabula nti, bwe mbeera sirina kkaadi sirinnyayo nja kukyejjusa.
Era ssaalinyeyo naye nasindise bakigatto bange abaakutte byonna by’olaba. Okumanya omukolo guno gwabadde gwa nkukutu ekisusse, eggulo ate waliwo omulala eyaleese
bwino owuwe nti emikolo gyabadde Kalungu (atali w’e
Masaka) mu muluka gwa Kalanamu mu ggombolola y’e Kalagala okuliraana Bugema yunivasite mu disitulikiti y’e Luweero!
Nti gwabadde mu maka ge baakazaako erya White House kubanga meeru nnyo. Olwokuba ng’ekyalo kikula bukuzi ate nga eyo y’emu ku mayumba ag’ebbeeyi agaasookawo, kwe kugikazaako erya White House. Ekituufu, eyo Nyamutooro alinayo
abazadde.
Buli omu era yasigadde yeebuuza nti wadde kwabadde kukyala bukyazi, lwaki tekwabadde Nebbi gye bazaalira ddala Nyamutooro? Oluvannyuma kyazuuse nti omwogezi yabadde Issa Musoke ye yakuliddemu okuteekateeka omukolo. Issa Musoke y’omu eyategeka n’omukolo gwa Rema ne Dr. Sebunnya. Okwanjula kwa February 22, 2025, e Nebbi mu maka ga Afred Apiu.
Alhaj Moses Kigongo ne Jovia Saleh be baakulembeddemu Kenzo okugenda ku buko. Baabadde Kiziri okumpi ne Bugema ku uweero mu maka ga bazadde ba
Nyamutooro , kitaawe Alfred Apiu. Nyamutooro mubaka wa Palamenti akiikirira abavubuka era kiteeberezebwa nti agenda kwesimbawo ku kifo ky’omubaka
omukazi owa disitulikiti y’e Nebbi.
Mu 2026, ajja kuba asusse ku ky’okukiikirira abavubuka. Nyamutooro era minisita omubeezi ow’ebyobugagga eby’omu ttaka
Emikolo bwe gyatambudde
Kwabaddeko obukuumi obw’amaanyi nga n’abagenyi bangi okwabadde abagagga, abantu baabulijjo ne bassereebu naddala abayimbi mikwano gya Kenzo baggyiddwako
amasimu nga tebaagala kufulumya bujulizi. Wakati mu mikolo nga
bakuba ennyimba naddala eza Kenzo okuli n’olwa Semyekozo lwe yakuba ng’ali
adda mu Sheikh Nuuhu Muzaata eyamuyita Ssemyekozo olw’okwekozanga
n’alemwa n’okuwasa Rema, abagagga okwabadde Flex Kabuye abeera mu Amerika
baafuuye abagole babo ssente eza Uganda, ddoolam n’ez’amawanga amalala.
Ekiwempe eky’ebbeeyi kwe baabadde kyawandiikiddwako ebigambo New Journey
ebitegeeza nti olugendo olupya lutandise. Nyamutooro yakyusizza emirundi egiwera n’asuulamu ggomesi ez’enjawulo n’emishanana