Mmengo etongozza pulojekiti y'ekibira kya Kabaka okutaasa obutonde bw'ensi

MMENGO etongozza Pulojekiti y’okulima n’okusimba emiti mu Buganda mu nteekateeka etuumiddwa Ekibira kya Kabaka n’ekiruubirirwa ky’okuzzaawo emiti ginansangwa.Ekibira ekisooka kigenda kuteekebwa mu Lubiri e Mmengo nga kyakubeera ku bugazi bwa yiika 17.9, kiteekebwemu ebika by’emiti 53 kyokka ne mu bitundu ebirala eby’Obwakabaka wakufunibwayo ettaka kusimbibweko ebibira.

Katikkiro ng'ayogera
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

MMENGO etongozza Pulojekiti y’okulima n’okusimba emiti mu Buganda mu nteekateeka etuumiddwa Ekibira kya Kabaka n’ekiruubirirwa ky’okuzzaawo emiti ginansangwa.

Ekibira ekisooka kigenda kuteekebwa mu Lubiri e Mmengo nga kyakubeera ku bugazi bwa yiika 17.9, kiteekebwemu ebika by’emiti 53 kyokka ne mu bitundu ebirala eby’Obwakabaka wakufunibwayo ettaka kusimbibweko ebibira.

Bweyabadde atongoza pulojkeiti eno ku lwokuna July 18,2024, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yategezezza ng’Obutonde bwensi, bwe buli eky’obugagga ekisingayo, Uganda kye lina nga kisingira wala amafuta n’ebyobugagga ebirala.

“Obutonde bwensi kya bugagga era nze Katonda n’ansaba ku butonde n’amafuta, kyabugagga ki kyatulekera,ngamba nti obutonde bwensi kubanga kya bugagga ekitalina alina era tusaanye okubukuuma n’okubutumbula,” Mayiga bweyagambye.

Enteekateeka eno, Obwakabaka bugenda kukolagana ne Lotale mu Uganda era ku mukolo guno Gavana wa lotale owa disitulikiti 9213, Anne Nkutu ne banne baagwetabyeko. Baawadde obweyamo okwongera okukolagana n’Obwakabaka okutumbula obutonde bwensi.

Katikkiro Mayiga yakulisizza Nkutu okulondebwa ku bukulu buno gyebuvuddeko era n’amwagaliza obuwereeza obulungi wakati mu kukuuma ebyo lotale byezze ekkola mu myaka 100 bukya etuuka mu Afirika.

Katikkiro ng'ayogera

Katikkiro ng'ayogera

Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Munnalotale Robert Waggwa Nsibirwa yategezezza nga Lotale n’Obwakabaka bwebatandika omukago emyaka etaano emabega okutumbula obutonde bwensi nga muno bakoleddemu emirimu mingi okuli okusimba emiti e Buikwe.

Ekibira kya Kabaka kyakubeera mu buli masaza era Waggwa yategezezza nti  mu buli ssaza mugenda kufunibwayo ettaka okunalimirwanga emiti.

“Kati twavudde ku nteekateeka eno,tetusimba busimbi miti wabula kati tulubirirwa okulaba nga girimibwa okusobola okunyikiza okutumbula,”Waggwa bweyayogedde.

Ye Nkutu yalaze okwenyumiriza olw’enkolagana ennungi ebbangiddwawo n’Obwakabaka okutaasa obutonde bwensi, ate n’okutumbula eby’obulamu okuli enteekateeka y’okuzimba eddwaliro e Nkozi-Mpigi mu ssaza ly’e Mawokota.

Nkutu yategezezza nga bwebategese emisinde gy’okulwanyisa obulwadde bwa kkokkoolo egigenda okubeerawo nga August 25,2024 era n’asaba Obwakabaka okubayambako okukunga abantu okulwanyisa obulwadde buno.

Okusimbibwa kw’Ekibira mu Lubiri, kugenda kuvujjirirwa lotale okumala emyaka ebiri, oluvanyuma obuvunanyizibwa bw’okukirabirira budde mu mikono gy’Obwakabaka. Kigenda kuyamba okukuuma obuwangwa kuba mugenda kuteekebwamu emiti n’ebimera ebiggyayo ebika bya Buganda,kijja kutumbula obulambuzi saako n’okutebenkeza embeera y’obudde.