Omugagga Nabukeera n’Omuchina bagugulana lwa kizimbe

BAWANNYONDO ba kkooti batunze ekizimbe ky’omukyala Miao Hua Xian eyakazibwako erya ‘Muchina’ w’e Nabugabo, ekisangibwa e Kololo nga n’ekirala kiri mu lusuubo olw’ebbanja lye yeewola mu bbanka ya Sudhir Ruparelia eya Cranes Bank eyaggalwa.

Ekimu ku bizimbe bya Miao ebitwalibwa e Kololo. Mu katono ye mugagga Nabukeera.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

BAWANNYONDO ba kkooti batunze ekizimbe ky’omukyala Miao Hua Xian eyakazibwako erya ‘Muchina’ w’e Nabugabo, ekisangibwa e Kololo nga n’ekirala kiri mu lusuubo olw’ebbanja lye yeewola mu bbanka ya Sudhir Ruparelia eya Cranes Bank eyaggalwa.
Entabwe yava ku bbanja okumulemerera okusasula mu budde ebizimbe bye ne birangibwa mu mawulire era omugagga w’omu Kampala, Christine Nabukeera owa kkampuni ya Namaganda Ltd, n’agulako eky’e Nabugabo (wooteeri ya 888) mu bbanka ya dfcu (eyatwala Crane Bank).
Lipooti ya poliisi eraga nti nga January 20, 2012, Miao yagenda mu Crane Bank ne yeewola doola emitwalo 50, asasule omusolo gw’ebyamaguzi bye n’asingayo ebizimbe bino.
Aba dfcu bagamba nti ebbanja lyamulema okusasula kyokka Miao ye alumiriza nti yalisasula n’alimalayo n’afuna ababalirizi b’ebitabo ne bamubalirira n’afuna ne lipooti ya poliisi eyazuula nti waliwo bbanka bye yalina okutereeza.
Okusika omuguwa wakati wa bbanka ya dfcu ne Miao kweyongera ng’eyagala asasule ssente n’amagoba gaazo ne zimulema era bbanka eno ekizimbe n’ekitunda. Ekizimbe kino kiri mu poloti 47 e Nabugabo ate ekirala kiri ku poloti 53 Mackenzie Vale e Kololo.
Omugagga Nabukeera okuyingizibwa mu lutalo luno kiva ku kuba nti yagulira mu bbanka ku nnyondo era Miao mu kuwakanya okutwala ebizimbe bye, yaggula omusango ku dfcu ne kkampuni ya Namaganda Ltd, Nabukeera mwe yagulira.
Mu nsalawo y’omulamuzi Richard Wejuli Wabwire nga April 7 2022, dfcu yalagirwa esasulire Miao ssente ze yasaasaanya mu kkooti, emuddize n’ebyapa by’ebizimbe ebibiri ebisangibwa e Ntebe ate baddemu babalirire amagoba ge baamusasuza bagakendeeze okuva ku bitundu 36 ku 100 okudda ku bitundu 24 ku 100.
Miao naye baamulagira ekizimbe ky’e Nabugabo akiddize bbanka ate Namaganda Ltd n’eragirwa esasulwe obukadde 46 buli mwezi okutandikira ku lunaku lwe yagula okutuusa ng’omusango gusaliddwa. Miao yalagirwa asasulire kkampuni ya Nabukeera ssente ze yakozesa mu musango.
Wabula bbanka ekyakalambidde okutwala ekizimbe ky’e Nabugabo ne Markenzi Vale e Kololo, ekyavuddeko Miao okudda mu kkooti. Miao yawandiikidde n’omuduumizi wa poliisi nga yeemulugunya