EKIBIINA ky’obwannakyewa ekya Wikimedia Community User Group Uganda, ekitumbula ennimi ennansi omuli n’Oluganda nga kizikolera ebiwandiiko ebitali bya kusasulira ku mutimbagano kijaguzza emyaka 10 mu Uganda.

Abamu ku banakibiina Kya Wikipedia Mu Uganda
“Kyokka bwe twayongera okuwera, twatandikawo ne Wikipedia y’Oluganda, ng’eno ezze ewandiika ku bintu ebyaffe ebya wano mu Luganda, era nabyo kwebiri ku mutimbagano mu lulimi lwe tumanyi nti lwogerwa abantu abasoba mu bukadde obusoba mu mukaaga (6).” Kateregga bwe yagambye.

Kateregga
Ekirala kwe kuba nti omulimu guno bagukolera ku kkompyuta naye amasomero mangi ge bagenda okutendeka tegalina kkompyuta ate n’abasomesa bangi bakaluubirirwa okuzikozesa nga baba balina okumala okubatendekera ebbanga.
Erina Mukuta Muhame, omu ku batandisi b’ekibiina kino mu Uganda yayanjulidde bammemba enteekateeka y’ekibiina ey’emyaka etaano egiddako gye yagambye nti yaakubalung’amya mu byonna bye banaakola mu bbanga lino. Muno mulimu ne ppulaani ey’okukozesa ebiwandiiko bya Wikipedia mu kusoma.
Bano bakola ne pulojekiti endala nga ez’okukuba ebifaananyi by’ebifo by’ebyafaayo mu Uganda ne babiteeka ku mutimbagano ng’omuntu yenna asobola okubyeyambisa okutumbula Uganda awatali kubisasulira era balina pulaani n’okutumbula ennimi za Uganda endala ennansi.