POLIISI ya CPS mu Kampala eggalidde omukazi akolera mu katale ke Nakasero olw'okukwata ekiso n'akifumita Omusajja atebereebwa okuba mu ganzi we n'amuletako ebisago ebyamanyi ebiviriddeko okumuddusa mu ddwaliro okufuna ng'ataawa.
Bino byabaddewo ku Mmande nga August 5 2024 ku saawa 12 : 00 ezákawungeezi ku lubalaza lw'ékizimbe kya Tourist Hotel abaserikale okuva ku poliisi ye Nakasero bwe bakutte omukazi Esther Nangekye ku bigambibwa nti yafumise omusajja Amos Mukiga agambibwa okubeera muganzi we.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala némirirwano Patrick Onyango yagambye nti Nangekye yasoose kuyombagana ne Mukiga nga amutebereza okubaako omukazi omulala gwáganza mu kifo kyékimu ekyasiridde kwekukwata ekiso namusala ku mukono ogwáddayo nafuna ekisago ekyamaanyi.
Yagambye nti abaserikale okuva ku poliisi e Nakasero abakulembeddwamu akulira poliisi eno ASP Haruna Manaf bagenze ku kizimbe kino nebakwata Nangekye natwalibwa ku poliisi saako n’okuddusa Mukiga mu ddwaliro lya Kisenyi okufuna obujanjabi .
Nangekye yatwaliddwa ku poliisi ya CPS naggulwako omusango gwókutuusa ebisago ku Mukiga oguli ku fayiro namba SD Ref 41/5/8/2024 nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso
Wabula Nangekye eyasangiddwa ku poliisi ya CPS yagambye nti Mukiga abadde amwesibako nga ayagala kumukwana wabula namugaana nga ku Mmande yabadde akutte akambe ngáli mu kusalasala mboga nayagala omusitula akambe nekamusala.
Yagambye nti tasobola kuganza Mukiga kuba ye mufumbo alina omwani we