OMUKULU w’essomero lya Good Foundation Preparatory School Namugongo, Stephen Ssemanda Ssemugenyi yeenyumiriza mu lupapula lwa BUKEDDE olw’engeri gy’abakulaakulanyizza nga bayita mu katabo ka PASS PLE akabayambye okuyitiranga waggulu ebigezo.
Ssemanda Ssemugenyi agamba nti, nga essomero, tebagwa katabo ka BUKEDDE nga muno bafunamu ebigezo ebifulumiramu ne babiwa abayizi ne babikola nga bino bibayambye nnyo okuyisiza abayizi mu ddaala eddungi.
Olukalala Lw’amasomero Agaasinga Mu Buli Ssomo Olwafulumizibwa Newvision
Mu mbeera eno ey’okwettanira PASS PLE wa BUKEDDE, essomero lyabwe mu kukola obulungi ebigezo bya UNEB, baakwata kyakusatu mu nsengeka y’amasomero agakoze obulungi Olungereza mu Uganda yonna mu bigezo ebyafuluma omwaka oguwedde.
Yagasseeko nti, essomero lyabwe lye lyasinga mu munisipalite ya Kira. Yagambye nti kati balina okugula amawulire ga BUKEDDE aga buli lwa Mmande n’Olwokuna kuba PASS PLE abongeddeko kinene. BUKEDDE era yakola kinene okusomesa abayizi mu biseera bya COVID-19, ekyabayamba obutaddirira.
Ssemugenyi Ng'asoma Olupapula Lwa Bukedde.
Yasiimye n’emiko emirala egifulumira mu lupapula luno nga Enkumbi Terimba mwe babangulira abalimi n’abalunzi, Asiika Obulamu asomesezza ku ndwadde ez’enjawulo n’engeri gy’ofuna obujjanjabi nga bino byonna obifuna ku 1,000/- zokka.