Kansala abadde avvoola Katikkiro Mayiga ne Kaggo ku by'empaka z;amasaza yeetonze

Aug 31, 2024

Kansala wa NUP, Abudallah Waziiri abadde yeggumbulidde omuze gw'okuvvoola Kaggo wamu ne Katikkiro wa Buganda  kwossa olukiiko oluddukannya empaka z’amasaza ga Buganda amenyese ne yeetondera Obwakabaka.

By Samuel Tebuseeke
Journalist @New Vision

Kansala wa NUP, Abudallah Waziiri Akim abadde yeggumbulidde omuze gw'okuvvoola Kaggo wamu ne Katikkiro wa Buganda  kwossa olukiiko oluddukannya empaka z’amasaza ga Buganda amenyese ne yeetondera Obwakabaka.

Omwaka oguwedde mu mpaka z’amasaza wakati Kyaddondo ne Buddu omupiira gwayiika mu ddakiika ya 82 ate n’omwaka guno ku Ssande ewedde nga 25/08/2024 era abawagizi ba Kyaddondo baayiye omupiira mu ddakiika ey'e 84 nga bagamba nti omukommonsi wa ffirimbi yabadde awadde aba Buddu penati y'amancoolo.

Waziiri omukiise w'e Bulamu mu tawuni kanso y'e Kasangati mu disitulikiti y'e Wakiso omupiira olwawedde yatadde obubaka ku mutimbagano nga yeewaana nga bwe yaduumidde abawagizi ba Kyaddondo abeeyiye mu kisaawe omupiira ne guyiika gattako okuvvoola obukulembeze bw'essaza wamu n'okuvuma Katikkiro Charles Peter Mayiga n'okumulumiriza okudibaga empaka z'amasaza ng'awa baddiifiri ssente olw'okuba ava Buddu.

Ebbaluwa Kansala Waziiri Gyeyawandiise Nga Yetonda

Ebbaluwa Kansala Waziiri Gyeyawandiise Nga Yetonda

Obubaka buno obusiga obukyaayi wamu n’okukuma omuliro mu bantu ba Kabaka bwe bwaleetedde Kaggo Hajji Magandaazi okulagira Kigonnya Robert  omwami wa Kabaka ow'eggombolola y'e Nangabo (Kasangati Town Council ) anoonye Kansala Waziiri amuleete ku ssaza era ajje n’obukakafu ku by'ayogera n'okukonjera abakulembeze b'Obwakabaka ebigambo ebitaliiko mutwe na magulu!.

Mu lukiiko olutudde ku ssaza e Kasangati Waziiri yalabiseeko ne bazadde be ne yeetonda mu maaso ga Kaggo wamu n'eri Obuganda bwonna nti ye byonna bye yayogedde yabadde asaaga ng'amanyi tebisobola kuvaamu buzibu.

Abeetabye Mu Lukiiko

Abeetabye Mu Lukiiko

Ono Kaggo yamusonyiye wabula n'amuwa obuvunanyizibwa okumuloopera bonna abatyoboola empaka z’amasaza naddala abo abayingira mu kisaawe buli kiseera ne bayiwa omupiira gwa Kyaddondo.

Kaggo mu lukiiko luno era mwe yasinzidde okulabula abafunvubidde okutabula emipiira gy'amasaza nti kaakubajjuutuka, baakutwalibwa ku poliisi bavunaanibwe balamulwe amateeka.

Khalid Ssimbwa, ssentebe wa ttiimu y'essaza Kyaddondo naye yavimiridde ekikolwa kya Waziiri wamu n’abalala bona abavvoola Obwakabaka .

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});