Amawulire

Omuliro gusse ow’emyaka esatu nnyina gwe yalese mu nnyumba ng’eriko kkufulu

Omuliro ogutannamanyika kwe guvudde gukutte amayumba ku mwalo ogw’e Ggunga ogusangibwa mu ggombolola y’e Mazinga mu bizinga by’e Ssese okukkakkana nga gusaanyizzaawo ebintu bya bukadde

Omuliro gusse ow’emyaka esatu nnyina gwe yalese mu nnyumba ng’eriko kkufulu
By: Samuel Nkuba, Journalist @New Vision

Omuliro ogutannamanyika kwe guvudde gukutte amayumba ku mwalo ogw’e Ggunga ogusangibwa mu ggombolola y’e Mazinga mu bizinga by’e Ssese okukkakkana nga gusaanyizzaawo ebintu bya bukadde ssaako okuttiramu omwana ow’emyaka esatu gyokka.

Amayumba Agayidde Mu Muliro Guno Gasukka Mu Makumi Asatu. Ekif. Kya Simu

Amayumba Agayidde Mu Muliro Guno Gasukka Mu Makumi Asatu. Ekif. Kya Simu

Kigambibwa nti omuliro guno gukutte ku ssaawa 9:00 ez’ekiro ekikeesezza olwaleero. Omugenzi ategeerekese nga ye Sonia Namuli era omuliro we gukwatidde nga nnyina Juliet abadde taliiwo kyokka ng’ennyumba yaleseeko kkufulu era eno eremeredde abadduukirize okukkakkana ng’omwana afiiriddemu.

Abubakali Seruwu kkansala w’ekitundu kino agamba nti tebaategedde muliro kwe gwavudde kyokka baagezezzaako okutaakiriza n’essefuliya, amabaafu wabula nga gwongera kutinta.

“Tufiiriddwa ebintu bya bulindo bwa nsimbi kubanga mu biyidde mubaddemu amaduuka, botiiki, emizigo kw’ossa ebintu by’omu maka binji,” Kabugo Erifazi ow’ebyokwerinda bwe yategeezezza.

 

Kitaawe w’omwana eyafudde yali yayawukana ne nnyina era nga ye abadde abeera Mukono so nga omwana abadde abeera ku kizinga ku mwalo guno era enjega eno we yagwiriddewo yabadde taliiwo nga n’ennyumba kuliko kkufulu, ekyalemesezza abaddukirize okumutaasa.

Tags:
Ssese
Muliro
Bbujje
Mwana