Palamenti ekungubagidde Mateke abadde oweebyokwerinda

PALAMENTI  ekungubagidde abadde minisita omubeezi owebyokwerinda  era omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kisoro, Sarah Mateke, ababaka ne basaba gavumenti nti emirimu gy’alese nga teginnaba kuggwa egimalirize.

Palamenti ekungubagidde Mateke abadde oweebyokwerinda
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision
#Amawulire #Palamenti #Sipiika Among

PALAMENTI  ekungubagidde abadde minisita omubeezi owebyokwerinda  era omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kisoro, Sarah Mateke, ababaka ne basaba gavumenti nti emirimu gy’alese nga teginnaba kuggwa egimalirize.

Sipiika Among Ng'atuuka Mu Palamenti Okukungubagira Omugenzi.

Sipiika Among Ng'atuuka Mu Palamenti Okukungubagira Omugenzi.

Omugenzi yava mu bulamu bw’ensi ku Lwomukaaga oluvannyuma lw’okulumbibwa obulwadde bw’omutima ku myaka 50.

Ekiteeso eky’okusiima emirimu gy’omugenzi kireeteddwa Katikkiro w’eggwanga Robinah Nabbanja ategeezezza nti omugenzi yafudde kirwadde kya mutima nga mu ddwaliro ly’e Mengo gye yabadde addusiddwa okufuna obujjanjabi.

Katikkiro Nabbanja ng'ayogera.

Katikkiro Nabbanja ng'ayogera.

Nabbanjja ategeezezza nti endwadde ezitasiigibwa ezimanyiddwa zifuuse ekizibu wabula ategeezezza nti gavumenti eriko empenda z’etaddewo okuzirwanyisa. Ekiteeso kisembeddwa minisita ow’ebyokwerinda Jacob Oboth ayogedde ku mugenzi nga omukkiriza abadde aweereza eggwanga lye n’omutima gumu.

Akulira oludda oluwabula gavumenti, Joel Ssenyonyi amwogeddeko nga omuntu abadde teyeegulumiza nga talina bbala.

Omumyuka wa pulezidenti Jessica Alupo ategeezezza nga gavumenti bw’erina enteekateeka okulaba ng’abantu b’e Kisoro bafuna fakitole egatta omutindo ku bummonde bwe balima nga omugenzi bw’abadde ayaayaana.

Abamu ku baffamire y'omugenzi abaabaddeyo. Wakati ye mulekwa.

Abamu ku baffamire y'omugenzi abaabaddeyo. Wakati ye mulekwa.