ABAKUGU mu poliisi, bakyekebejja sampo ezagiddwa ku basirikale ba poliisi, ku bigambibwa nti ababiri ku bbo , baasobezza ku muwala atanneetuuka .
Bino byabadde mu bikujjuko ebibaawo buli mwaka eby'okuwalampa olusozi Kagulu mu disitulikiti y'e Buyende era nga Kyabazinga wa Busoga ,ye yabitongozza mu mwezi oguwedde nga August 17.
Kigambibwa nti mu bikujjuko ebyo, mwabaddemu effujjo okuva mu bavubuka era poliisi n'ewalirizibwa okukuba amasasi mu bbanga okubagumbulula.
Mu mbeera eyo, omuwala ow'emyaka 14 nti mukwetaasa ng'adduka okudda awaka, gye yasangidde abasirikale basatu nti ababiri ne bamusobyako bombi lumu, n'atuuka n'okukosebwa mu bitundu bye , ebyekyama.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Rusoke Kituuma, annyonnyodde nti abasirikale abaabadde mu kifo ekyo, baggyiddwaako sampo basobole okuzigeraageranya n'ezazuuliddwa ku mwana , bazuule abaabadde emabega w'ekikolwa kino, nga mu kiseera kino, balindiridde abakugu bamale okuzeekebejja.