Amawulire

Abaserikale baggyiddwako sampo okuzeekebejja ku by'okusobya ku mwana atanneetuuka!

ABAKUGU mu poliisi bakyekebejja ssampo ezaggyiddwa ku baserikale ba poliisi ku bigambibwa nti ababiri ku bo baasobezza ku muwala atanneetuuka.

Abaserikale baggyiddwako sampo okuzeekebejja ku by'okusobya ku mwana atanneetuuka!
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABAKUGU mu poliisi bakyekebejja ssampo ezaggyiddwa ku baserikale ba poliisi ku bigambibwa nti ababiri ku bo baasobezza ku muwala atanneetuuka.

Bino byabadde mu bikujjuko ebibaawo buli mwaka eby'okuwalampa olusozi  Kagulu mu disitulikiti y'e Buyende era nga  Kyabazinga wa Busoga ,ye yabitongoza mu mwezi oguwedde nga August 17.

Kigambibwa nti mu bikujjuko ebyo, mwabaddemu efujjo okuva mu bavubuka era poliisi n'ewalirizibwa okukuba amasasi mu bbanga okubagumbulula.

Mu mbeera eyo, omuwala ow'emyaka 14 mu kwetaasa ng'adduka okudda awaka, gye  yasangidde abaseikale basatu nti ababiri ne bamusobyako bombi lumu, n'atuuka n'okukosebwa mu bitundu bye , ebyekyama.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Rusoke Kituuma, annyonnyodde nti abaserikale abaabadde mu kifo ekyo,  baggyiddwako sampo basobole okuzigeraageranya n'ezaazuuliddwa ku mwana , bazuule abaabadde emabega w'ekikolwa kino, nga mu kiseera kino, balindiridde abakugu bamale okuzeekebejja.

Tags:
Amawulire
Sampo
Kwekebejja
Busoga
Kagulu