OMUVUBUKA kaggwensonyi agambibwa okulabiikiriza maama eyagenda ku kyeyo n'akakkana ku muwala we myaka 10 n'atandika okumusobyako, oludda oluwaabi luleese obujuluzi obumusindika mu kkooti enkulu.
Hassan Kayanja 24, mutuuze w'e Masanafu mu Lubaga y'abadde avunaanibwa mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo ogw'okujjula ebitanaggya wabula eno omulamuzi Adams Byarugaba amusindise mu kkooti enkulu atandike okubitebya.
Okusinziira ku ludda oluwaabi olwakukembeddwamu omuwaabi wa Gavumenti Caroline Mpumwire, lugamba nti omuwala eyasobezebwako asoma kibiina kya kusatu (P.3) myaka 10 (amannya gasirikiddwa).
Kigambibwa nti Kayanja n'amaka g'omwana ono balirwana wabula nnyina w'omuto yagenda ku kyeyo kitaawe n'asigala naye. Olw'okuba Taata naye abeera akola omwana asigala waka ne muganda we.
Kiteeberezebwa nti mu December wa 2023, omuto ono yabuza ekisumuluzo kya Kayanja n'atandika okumukanda okukinoonya mu nnyumba eno gye yamusanga n'amusobyako. Yamukuutira obutagambako muntu yenna mu nkola y'okumutiisatiisa.
Omwana ono kigambibwa yasigala agendanga mu kazigo k'omuvubuka ono era yamukozesa enfunda eziwera era ng'amutiisatiisa.
Lumu muganda w'omuto yamubuuza ekimubeezanga mu nnyumba ya Kayanja, ku luno n'abotola ekyama nti bulijjo amukozesa kwe kukwatibwa n'atwalibwa ku Poliisi oluvannyuma n'avunaanibwa mu kkooti.
Oluvannyuma lw'okunoonyereza okuggwa, omulamuzi Byarugaba yamuwadde empapula ezimusindika mu kkooti enkulu atandike okwewozaako wabula kati akuumibwa Luzira mu kkomera okutuusa ng'ayitiddwa okwennyonnyolako