ABATUUZE ku byalo 3 e Namayumba mu disitulikiti ye Wakiso basattira olw’omukazi gwebagamba nti yajja ng’omupunta ku ttaka ate n'atandika okukola effujjo kubibanja byabwe.
Abatuuze abali ku byalo okuli Busamba, Kanziro ne Ngondwe bebalumiriza Bena Nakato okusala amakubo mu bibanja byabwe ku kifuba nga tamaze nakubenyanjulira buvunanyizibwa bwe ku ttaka.
Joachim Kibabu yagambye nti, Nakato yaretebwa Richard Ssemitala Eusteria Ssengatebuka bannannyini ttaka, nga baagala abayambeko okulipunta okulaba weriyita ssaako okumanya abatuuze abaliko.
Kyokka nti Nakato yakozesa olukujjukujju bano n'abaggyako ekyapa olwo n'atandika okukola effujjo ng’ategeeza nga bwe bamuguzizza ettaka era nti ayagala kulikolerako bibye.

AB'ebibanja nga bali ku ttaka erikaayanirwa
“Balandiloodi betumanyi ye Ssemitala ne Ssegantebuka, kyokka twewunya Nakato ate okuvaayo nategeeza nti ettaka lilye era natandika okutukola effujjo ly’okusala amakubo mubibanja byaffe ekitadde ekyalo ku bunkenke.” Kibabu bweyayongeddeko.
Yagambye nti baddukira ewa Minisita w’ebyettaka Judith Nabakooba ne bamuyitiramu ensonga zaabwe era naawa Nakato ebiragiro obutaddamu kusala mu bibanja by’abantu ssaako okuggyako bakanyama ku ttaka.
Kyokka Kibabu agamba nti bakanyama Nakato yabalemezaako nga waliwo n’ekibanja ky’omutuuze kye baatandise okuzimbako ekikomera nga tebamusabye nga wano webaakuba enkambi.
Afua Nalule alumiriza Nakato okutekesa kitaawe (wa Nalule) ekinkumu ku biwandiiko kumpaka ng’alaga nti akkirizza okusala ku kibanja kye nti era natakoma okwo natandikirawo okukikolako effujjo.
Nalule yagambye nti ekibanja kitaabwe kye yareka kiwezaako yiika 4 nti kyokka ebiggya ebyaliko, Nakato yabiseteeza nakolawo amakubo, ssaako okusala salamu poloti ez’enjawulo.
Abatuuze baategezezza nti bakanyama ba Nakato basula babakolako effujjo kyokka bwe baddukira ku poliisi, ate bbo (abatuuze) beggulako emisango gy’okusalimbira ku ttaka nebirara.
Kyokka Bukedde bweyatukiridde Nakato, yategezezza nti abantu ab’ebibanja abagamba nti yasala amakubo mu bibanja byabwe, kikyamu kuba nti abasing yakola nabo endagaano eziraga nti baamuguza mumateeka.

Ab'ebibanja nga bali ku ttaka erikaayanirwa
Yagambye nti ettaka yaligula ku banannyini era ab’ebibanja abamu abakoledde neku byapa nga bayisemu kuteesa n’okwesalako. Era nti n’amakubo agalimu gatwala babibanja mubibanja byabwe.
“Nze landiloodi omutuufu era alina ekyapa ku ttaka lyange, sirina buzibu nababibanja abali ku ttaka lyange, Naye abasinga bwembagamba okwegula mbakolere ebyapa tebakkiriza.” Nakato bweyayongeddeko.
Yawakanyizza eky’okuteeka bakanyama ku ttaka nagamba nti abaana abasinga abamukolera bazaalibwa kubyalo ebyo, era nagamba nti nabamu bazaalibwa abo beyakolera ebyapa