Amawulire

Minisita Mayanja alambuludde ku Public Land

MINISITA omubeezi ow’Ebyettaka, Dr. Sam Mayanja annyonnyodde ku ngeri Uganda gye yafunamu ettaka erya Public Land okuva mu ndagaano ya 1900 n’agamba nti abantu basaana balyawule ku ly’obwannannyini. Yasinzidde ku pulogulaamu 'Mugobansonga Special’ ebeera ku Bukedde Fa Ma ku Ssande n’addamu ebibuuzo ku ttaka.

Minisita Mayanja
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

MINISITA omubeezi ow’Ebyettaka, Dr. Sam Mayanja annyonnyodde ku ngeri Uganda gye yafunamu ettaka erya Public Land okuva mu ndagaano ya 1900 n’agamba nti abantu basaana balyawule ku ly’obwannannyini. Yasinzidde ku pulogulaamu 'Mugobansonga Special’ ebeera ku Bukedde Fa Ma ku Ssande n’addamu ebibuuzo ku ttaka.
EKIBUUZO: Public Land oba abamu kye bayita Ettaka lya Gavumenti kye ki? Litambudde litya okuva mu ndagaano ya 1900?
MINISITA MAYANJA: Abamu baliyita ttaka lya Gavumenti ate abalala ne baliyita ettaka lya Kabaka oba ettaka ly’Owessaza.
Naye nga njogera amazima ameereere ka tutandike ne 1900 ng’ensi ewambiddwa, ettaka ne liggyibwa ku bannyini lyo ne ligabanibwa Abazungu n’aba wano abatonotono. Nga kino tekinnabaawo, waaliwo obufuzi obw’omufuzi eyeetongodde ng’ayitibwa Kabaka. Naye wadde yalina obufuzi bw’amaanyi, ng’ettaka talirinaako buyinza busukka kitiibwa, nga tagoba bantu ku ttaka.
Nga waliwo n’abalala be baayitanga abataka nabo nga balina obuyinza naye nga nabo tebatigomya bantu ku ttaka nga buli omu akake kake.
Naye Sir Apollo Kaggwa ne banne nga bali wamu n’Abazungu abaabatendeka okuwamba Obwakabaka n’Obukulembeze obulala kati ekiyitibwa Uganda eby’okwegabanya baabikolera mu lukiiko olwatuula mu 1896 ne beewa ettaka, ensi n’esigala nga njereere nga Mwanga bwe yagamba nga bamuwambye.
Mu ndagaano eno, (1900 Buganda Agreement), akawaayiro 15 kaagamba nti ettaka mu kiseera ekyo lye baayita ery’Obwakabaka bwa Uganda lyali ligabanyiziddwa mu ngeri zino:
Baagamba nti Buganda yonna yalimu square miles 19,600; ebibira ne balagira nti byakufugibwanga Gavumenti nga mu kiseera ekyo byaliko square miles 1,500, Gavumenti n’eweebwa square miles 9,000 nga zifugibwa Gavumenti ya Kkwiini.
Kabaka wa Buganda yaweebwa square miles 350 ne batalaga ngeri gy’anaazitambuzaamu. Namasole, ng’ono ye nnyina wa Kabaka Chwa II mu kiseera ekyo, n’aweebwa square miles 16, ne bagamba nti bw’anaaba afudde omukaaga gwe gugwe kyokka 10 linaabanga lya nsikirano nga Namasole ajja y’alisikira. Mu bufunze, lino 10 yali Public Land kuba lya ofiisi ya Bwannamasole, ng’oli bw’avaawo addako n’azisikira.
Ne bawa n’abalangira n’abambejja bonna square miles 90. Ate Amasaza agaaliwo 20 nago ne gaweebwa ettaka nga buli akulira essaza afunye square miles 8 ng’awamu zaali square miles 160 nga lino lya bwannannyini lyabwe.
Naye ne wabaawo ettaka eryatuumibwa Official Estate nga buli ssaza baaliwa square miles 8 nawo omugatte gwa square miles 160 nga lino lya PublicLand, asikidde ofiisi y’alibeerako n’obuyinza.
Kuno kw’ossa abakuza ba Kabaka abasatu okwali Apollo Kaggwa, Zakariya Kisingiri ne Stanslas Mugwanya buli omu n’aweebwa ettaka lye ery’obwannannyini lya square miles 16 ne wabaawo endala square miles 16 nga za kudda mu ofiisi zaabwe okuli eya Katikkiro, omuwanika n’omulamuzi nga zino za Public Land si za bantu ssekinnoomu n’abalala ne baweebwa ettaka mu ngeri ez’enjawulo.
Ekyaddirira ly’etteeka lya 1903 eryateekebwawo okufuga Public Land yonna, Official Estates nazo
Minisita Mayanja alambuludde ku Public Land
ne bazikolera etteeka mu 1919 eryafuganga ettaka ery’amasaza, amagombolola n’awalala nga likuumibwa bukuumibwa abo ababeera mu ofiisi eyo.
Ate mu tteeka lya 1908, bassaawo etteeka eryayawula Private Mile ne Official Mile abantu ne bamanya nti baddembe n’okutunda ku ttaka lyabwe erya Private Mailo era ne kirambululwa bulungi ne kissibwako n’enkola n’obukwakkulizo.
Ekyo bulijjo kye nnyinyonnyola ne bannange ab’e Mmengo kye nsuubira nti kyangu okutegeera nti ettaka lya Official Estate omuli eryaweebwa amasaza n’amagombolola lya Public Land sso si lya Kabaka nga omuntu naye bw’okyogerako nga bagamba nti ovvodde Kabaka.
Bw’ogenda ne bakulaga ku byapa ebyo okugeza eky’ettaka lya Official Estate y’essaza ly’e Ssingo, kuliko nti Mukwenda-Ssingo sso si mannya ga bantu kuba alibeera mu mitambo y’oyo aliko mu kiseera ekyo kuno kw’ogatta amateeka aga Gavumenti eriwo eyalizza wansi wa disitulikiti nga livunaanyizibwako District Land Boards.