NNAMUKADDE agambibwa okulwanagana ne mutabani we ow'emyaka mwenda ekyamuviirako okufa, kkooti e Mengo emusindise mu kkooti enkulu okutandika okwewozaako n’ogwokutta omuntu.
Ruth Nagadya Nagawa 68, mutuuze w'e Busega Kabaale Zzooni mu Lubaga y'agasimbaganye n'omulamuzi wa kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo Adams Byarugaba amuwadde empapula ezimusindiseeyo oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okukung’aanya obujulizi obunaakozesebwa ng’awennemba n’omusango guno.
Nagawa mu kkooti.
Kigambibwa nti enjega eno yaliwo nga February 16, 2024 e Busega Kabaale, Nagawa n'abalala abatannakwatibwa bwe bakakkana ku mwana Wilberforce Bitosi ne bamutta.
Kiteeberezebwa nti Bitosi eyafa mutabani wa Nagawa ddala muganda we amuddako gw'azaala wabula ng'omwana oyo mbu yalina ekirwadde ekimukwata ekimuleetera okutabukamu omutwe.
Kigambibwa nti ku olwo namukadde ono yali atudde awo anyumya n'abantu Bitosi n'atandika okumuggunda ebitoffaali n'agakonde mu mugongo abaaliwo kwe kwebuuza omwana ekimukubisa nnyina bw'atyo ne bamukwata ng'ayambibwako abaaliwo.
Nagawa yategeeza kkooti nti ekyaddako kuwulira omwana afudde naye bw'abadde..Yasindikiddwa ku limanda e Luzira mu kkomera ly’abakazi gy’anaava okugenda mu kkooti enkulu okutandika okuwerennemba n’ogw’ettemu.