Amawulire

Omulamuzi alambudde ekizimbeekikaayanirwa Nabbaale ne Jingo

OMULAMUZI wa kkooti enkulu Immaculate Busingye alambudde ekizimbe ekimaze emyaka 10 nga kikaayanirwa wakati w’omugagga Teopista Nabbale ne Charles Jingo.Ekizimbe kino kisangibwa mu Poloti 1 ku luguudo lwa Martin Road ekitunudde mu paaka ya ttakisi empya

Ekizimbe ekyalambuddwa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OMULAMUZI wa kkooti enkulu Immaculate Busingye alambudde ekizimbe ekimaze emyaka 10 nga kikaayanirwa wakati w’omugagga Teopista Nabbale ne Charles Jingo.
Ekizimbe kino kisangibwa mu Poloti 1 ku luguudo lwa Martin Road ekitunudde mu paaka ya ttakisi empya.
Omulamuzi bwe yatuuse ku kizimbe kino ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde n’alagira bannamateeka ba buli ludda okuwaayo obujulizi bwonna obulaga obwannannyini nga balina kukikola mu wiiki ssatu. Yagambye nti waakuwa ensala ye nga January 31, 2025.
Kkooti yagituuzizza ku kizimbe kino nga n’abapangisa bonna weebali n’asoya buli ludda ebibuuzo.
Looya Majeran Kazibwe yategeezezza nti omusango gumaze mu kkooti emyaka 10 nga tegusalibwa .
Yagambye nti Jingo ye yasooka okugula ekizimbe ku ffamire ya Moses Nyanzi eyali amanyiddwa nga Drago, eyakigula okuva mu Custodian Board ate ne Nabbaale naye ne bakimuguza oluvannyuma. Ensonga aba KACITA baazituulamu ne basooka bazisala nti Nabbaale bamuddize ssente ze obukadde 50 bwe yateekamu kyokka ne bagiwakanya.
Aba KACITA baabaddewo mu kkooti era baagambye nti balindiridde nsalawo ya mulamuzi ku musango guno kubanga eyaabwe baagiwa dda. Abakaayana bombi bammemba ba kibiina ekigatta abasuubuzi ekya KACITA