BANNAKIBIINA ki NUP si bamativu n’ensala y’omulamuzi mu musango gwe baali bassaayo nga basaba kkooti ewalirize gavumenti okuleeta abantu baayo bebagamba nti babuzibwawo abebyokwerinda ogwagobeddwa.
Shamim Malende (asooka Ku Ddyo), David Lewis Lubongoyaamuddiridde, Kyagulanyi, Munnamateeka George Musisi Wamu N'abenganda Z'abagambibwa Okubuzibwawo.
Akulira NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu ng’ali wamu ne ssaabawandiisi David Lewis Lubongoya, bannamateeka wamu n’ab’enganda za bantu 18 abagambibwa okubuzibwawo baategeezezza nti baakujulira ensalawo y’omulamuzi wa kkooti enkulu, Esther Nambayo mwe yategeerezza nga oludda oluwaabi bwe lwalemererwa okuleeta obujulizi obulaga nti abantu be boogerako gavumenti y’ebalina.
Banno baagambye nti ekyasinze okubeewuunyisa ye mulamuzi okulambika mu nsala ye nga ye bw’atalaba katambi nga katikkiro Nabbanja ayogera mu palamenti nga akakasa nga gavumenti bw’erina kibalama.
Yategeezezza nti ab’eng’anda z’abo abagambibwa okubuzibwawo baali tebamala kukakasa nti abantu be boogerako baabuzibwawo awatali bujulizi bulala nga vidiyo ezaakwatibwa nga be bagamba bakwatibwa.
Kyagulanyi Ng'ali Wamu N'abakyala N'abenganda Z'abo Abagambibwa Okubuzibwawo
Kyagulanyi yategeezezza nti wadde nga Katikkiro Nabbanja yavaayo n’ategeeza nga gavumentu bw’erina Kibalama era n’omukulembeze w’eggwanga n’avaayo n’asoma agamu ku mannya g’abo aboogerwako kibeewuunyisa nti ate kkooti teyabyesigamyeko.
Lubongoya yategeezezza nti okwawukanako ku akulira akakiiko k’eddembe ly’obuntu, Mariam Wangadya mu nsala ye ey’omusango omulamuzi Nambayo ye yakiraze nga abantu aboogerwako bwe baaliyo nga yeesigamye ku busongasonga bungi okulaga nti tebaawambibwa wabula n’ategeeza nti baakukozesa emitendera gyonna egisoboka okulaba nga banoonya obwenkanya era baakujulira.
Ab’enganda ne bakyala b’abo abagambibwa okubuzibwawo okuli Kanatta, kibalama, Nalumoso, Ssempijja, ssemuddu, Wangolo, mbabazzi n’abalala battottodde engeri abantu baabwe gye baabuzibwawo abagambibwa okubeera abeebyokwerinda n’engeri gye balafuubanyeemu okubanoonya era ne basaba gavumenti okubawa abantu baabwe.