Omulamuzi ku kkooti ya Buganda Road, Winnie Nankya Jatiko, asindise abavubuka bana mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw’okubasomera omusango gw'okubba kateni ezibalirirwamu obuwumbi 3.

Abavubuka Abagambibwa Okubba Kateni nga bali mu kaguli ka kkooti.222
Ku balala kuliko Ivan Zziwa 28 omutuuze wa Namugongo Mbalwa mu disitulikiti y’e Wakiso ne John Tamale 27 omutuuze w’e Kiwanda Jomayi e Seeta mu disitulikiti y’e Mukono.
Abaana baaguddwako emisango ena omuli okubba n’okufuna ebintu ebibbe ekikontana n'amateeka agafuga eggwanga.
Bano era bagguddwako omusango gwakufuna ebintu ebigambibwa okubeera ebibbe oba nga bamanyi balina ensonga ezikakasa nti byabbibwa oba byafunibwa mu bukyamu.
Omuwaabi wa gavumenti mu musango guno, Allan Mucunguzi yategeezezza kkooti nga okunoonyereza ku buzzi bw’emisango gino bwe kukyagenda mu maaso era bano baasindikiddwa ku limanda e Luzira okutuusa nga November 14, 2024.