EBY'OMUSAWO eyajingirira empapula z'obuyigirize byongedde okukaluba omulamuzi bw’amuzizzaayo e Luzira okutuusa nga November 22.
Ken Nnyombi 38, nga olumu akozesa lya Innocent Ssemanda olwaleero abadde akomezeddwawo okusaba okweyimirirwa tekisobose olw’ensonga omulamuzi gy’awadde munnamateeka w'oludda oluwawaabirwa erabise okubeera ey’essimba.
Nnyombi Mu Kaguli Ka Kkooti ng'awuliriza.
Omulamuzi Winnie Nankya Jatiko ategeezezza nga bw’atasobola kuwulira kusaba kwa bano kubanga ye mulamuzi abadde asigaddewo okukubiriza n'okuwulira emisango gya kkooti endala zonna kuba abalamuzi abalala balina enkiiko ze bagenze okwetabamu.
Nnyombi nga agambibwa okubeera omusawo omukulu mu ddwaaliro eriyitibwa Cleveland e Kasangati ku Lwokutaano lwa wiki ewedde yaggulwako emisango 13.
Egimu ku misango egimuvunaanibwa kigambibwa nti yajingirira empapula z'obuyigirize mu kujjanjaba abantu ekintu ekitaali kituufu era oluvannyuma lw'okugyegaana yasindikibwa mu nkomyo e Luzira.
Oluvannyuma lw'okunoonyerezebwako yatwalibwa ku kitongole kya poliisi ekikola mu kunoonyereza ku buzzi bw’emisango era gye yaggyibwa n’aleetebwa mu kkooti.
Emisango 13 gy’awerennemba nagyo kuliko okujingirira ebintu eb’yenjawulo omuli endagamuntu, ebbaluwa y'obuyigirize mu kujjanjaba okuva ku ssettendekero wa Makerere, ebbaluwa eraga nti alina obusobozi mu kujjanjaba okuva mu kitongole ky’eby'obulamu.
Mu birala bye yajingirira kwaliko ebbaluwa esaba omulimu, kkontulakiti esaba omulimu okuva mu kitongole ky’ebyobulamu, kaadi esaba omulimu byonna nga biri mu mannya ga Innocent Ssemanda ekitaali kituufu.
Emisango emirala egimuvunaanibwa kigambibwa nti ono yafuna ebbaluwa ekakasa nga bw’alina obumanyirivu mu kujjanjaba ng’eriko ennamba 15452 wamu n'okufuna ebbaluwa ekakasa nti alina obumanyirivu mu kujjanjaba okuva mu kibiina ekitwala abasawo mu mannya ga Ssemanda.
Emisango gyonna yagyegaana wabula omuwaabi wa gavumenti Nam Terpister yategeeza kkooti nga okunonyereza ku musango guno bwe kukyagenda mu maaso.
Abadde akomyewo okusaba okweyimirirwa wabula tekisobose era omulamuzi omusango agwongeddeyo okutuusa nga November 22 lwe bagenda okuwulira okusaba okweyimirirwa.