Amawulire

Omulambo gw'omusuubuzi Omuchina eyattibwa banne poliisi eguziikudde mu Mabira

POLIISI eziikudde omulambo gwÓmusuubuzi omu China  gw’erudde ng’enoonya eyattibwa banne mu Kampala ne bamupakira mu kuttiya ne bamuziika mu Mabira.

Omulambo gw'omusuubuzi Omuchina eyattibwa banne poliisi eguziikudde mu Mabira
By: Eria Luyimbazi, Journalist @New Vision

POLIISI eziikudde omulambo gwÓmusuubuzi omu China  gw’erudde ng’enoonya eyattibwa banne mu Kampala ne bamupakira mu kuttiya ne bamuziika mu Mabira.

Kino kiddiridde poliisi okunoonya omulambo gwa Yang Wenli eyali akolera ku kizimbe kya Haidar Plaza ku Ben Kiwanuka Street okuttibwa bannansi banne okuli Dai Jie nga ono yali mukozi we  ne Yanga Tiangang nga bamulumba mu dduuka mw’akolera era nga mw’asula ne bamutemaateema nga July 7 2024 omulambo ne bagubakira mu kkutiya ne bazinga mu Mabira.

Ekizimbe Okuli Edduuka Omugenzi Qwe Yhali Akolera.

Ekizimbe Okuli Edduuka Omugenzi Qwe Yhali Akolera.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti okuzuula nti Yang yali attiddwa kyaddirira abooluganda lwe e China okutwala akabanga nga tebamuwuliza kwe kukuba enduulu ku kitebe kyabwe mu Uganda nga baagala okumanya ebifa ku muntu waabwe.

Yagambye nti ekitebe kya China mu ggwanga kyatuukirira poliisi n’etandika okunoonyereza ekyaviirako okukwata  Dai Jie n’aggalirwa wabula ye Tiangang ne kizuulwa nga yali afulumye ggwanga n’addayo e China.

Yategeezezza nga July 7 2024 Tiangang yagenda ku dduuka lya Yang Wenli ne bayombagana n’amusinza amaanyi n’amutemaatema era omulambo gwe ne bagupakira mu kkutiya ng’ayambibwako Dia  oluvannyuma ne baddukira ku poliisi y’e Kabalagala ne balimba abaserikale nti balina abalabe bangi nga baagala okufuna obukuumi basengule ebintu okuva mu dduuka.

Abakugu Okuva Mu China Nga Bapakira Ebintu Byabwe Mu Motoka Okugenda Mu Mabira

Abakugu Okuva Mu China Nga Bapakira Ebintu Byabwe Mu Motoka Okugenda Mu Mabira

Yagambye nti abaserikale ku poliisi e Kabalagala baababuuza lwaki tebagenze ku poliisi ya CPS wabula Tiangang ne Dia ne babategeeza nga nayo bwe balinayo abalabe kwe kusalawo okubawerekera ne basomba ebintu okuva mu duuka ne babitwala e Wandegeya gye baali bapaangisizza.

Oluvannyuma lw’okusomba ebintu Tiangang ne Dia baafulumya omulambo gwa Wenli ne bamuteeka mu mmotoka ne bagutwala ne baguziika mu Mabira  nga bwe baamaliriza Tiangang n’afuluma eggwanga.

Mu kunoonyereza poliisi kwe yakoze yasoose n’ekunya Dia wabula nga tayagala kwogera  nga abaserikale yabategeeza nti ye yawerekera munne Tiangang okutuuka mu samba y’ebikajjo gye yaziika Wenli nga tamanyi byaddako.

Mugumya Ng'aliko By'annyonnyola Omu Ku Bakugu Abaavudde E China Bwe Baabadde Beetegekera Okugenda Mu Mabira.

Mugumya Ng'aliko By'annyonnyola Omu Ku Bakugu Abaavudde E China Bwe Baabadde Beetegekera Okugenda Mu Mabira.

Onyango yagambye nti poliisi yasalawo okutegeeza ekitebe ky’eggwanga lya China era omu ku beenyingira mu ttemu lino, Wenli bwe yaddayo mu China poliisi yaayo yamunoonyezza n’emukwata n’emuggalira ate ye Dia n’asindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira.

Yagambye nti oksobola okuzuula omulambo ekitebe kya China kyaleese abaserikale abanoonyereza ne batandika okwetegereza engeri gye baatambuzaamu omulambo nga bakozesa GPS eyabalaze nti omulambo baaguziika mu Mabira.

Ku Lwokuna abaserikale okuva ku CPS nga bakulembeddwa akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kampala n’emiriraano, D/ACP Henry Mugumya baagenze mu Mabira ne baziikula omulambo gwa Wenli wamu n’abakugu abaavudde e China nga gwasangiddwa guli mu kkutiya  ne gutwalibwa e Mulago gye gwaggyiddwa ne guzzibwayo e China.

Yagasseeko nti Dia ne Tiangang bavunaanibwa omusango ogw’okutta omuntu nga ye Dia ali ku alimanda mu kkomera e Luzira.

Tags:
#China
Poliisi
Mabira
Kutemula
Ttemu
CPS
Mulambo
Musuubuzi
Kampala
Haidar Plaza

Emboozi Ezifanagana