AKULIRA oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, Joel Ssenyonyi ayagala sipiika Anita Among annyonnyole ku ffujjo eryakolebwa ku bababaka okutuuka abamu okutwalibwa nga biwala ttaka.
Mu lukungaana lwa bannamawulire lw’atuuzizza olwaleero, Ssenyonyi ategeezezza nti bingi ebyakolebwa mu nzikiza wakati nga ne bannamawulire bagobeddwa gye baakwatira ebifaananyi mu kadde palamenti we yali esika omuguwa ku bbago ly’emmwanyi.
Abooludda Oluvuganya Mu Lukung'aana Lwa Bannamawulire Lwe Baakoze.
Agambye palamenti oluddamu okutuula, ayagala sipiika Among annyonnyole lwaki munda mwalimu abantu abatategeerekeka ate abadda ku babaka be ne babatwala nga ababbi nga n’abakayala ne bakwatibwa mu ngeri etasaanidde.
Ssenyonyi era ayagala bannyonnyolwe lwaki ababaka ku luddda oluvuganya bokka be baagobwa ate nga n’aba NRM baali bakuba embeekuulo n’agamba nti kino kiraga nti sipiika yali yeekubidde oludda lumu.
Ku nsonga y’okuba nga omubaka owa Kilak North Anthony Akol yawujja munne owa munisipaali y’e Mityana Francis Zaake enguumi, Ssenyonyi agambye nti kyali tekisaanidde nga kyava ku kuba nti palamenti yali ekubyeko nga buli omu anoonya w’atuula wabula nga ensonga eno bajigoberera okulaba eky’okukola.
Awakanyizza okuba nga beeyagalira okufuuluma olutuula lwa palamenti n’agamba nti baafulumizibwa tebeeyagalidde nga yeewuunya abantu abadda eyo ne bagamba nti bandisigaddewo ne balwana.
“Twandi lwanidde mu nzikiza?, ffe twajja twetegese kulwana nga tweyambisa bwongo na mateeka era baatufulumya tetweyagalidde olw’okubateeka ku nninga kubanga twali baakulemerako mpaka .”
Wabula, akunze abantu okwongera okulima emmwaanyi.