ABASUUBUZI ababadde batandise okweyiwa ku nguudo okutunda ebintu bya Ssekukulu bakiguddeko abaserikale ba KCCA bwe baboye ebintu byabwe nókubaako be bakwata.

Abaserikale nga bakutte omu ku bavubuka.
Abasuubuzi babadde bayiye ebintu byabwe ku luguudo lw'omu Kikuubo, Nakivubo Road , ku lubalaza lwa Mukwano Arcade , Luwum Street, ne Ben Kiwanuka Street n'abalala ne babeera mu ppaaka za ttakisi.
Yagambye nti bonna abaagala okutunda ebintu basigaleyo mu butale n'amaduuka kuba bonna abanaalemera ku nguudo baakukwatibwa n'okubowa ebintu byabwe kuba kimenya mateeka.
Yategeezezza nti mu kikwekweto kino waliwo ababadde batundira ku nguudo ne badduka n'ebintu byabwe babiyingizza ebizimbe wabula nga nayo bayingiddeyo ne babikukunulayo ne babitwala