NRM gwe yamma tiketi awangudde akalulu k’e Kisolo

AKALULU k’okujjuza ekifo ky’omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Kisoro kaakomekkerezeddwa nga NRM enyiga biwundu oluvannyuma lw’omukyala Grace Akifeza Ngabirano, gwe bamma tiketi okukawuuta obuva

Ngabirano
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

AKALULU k’okujjuza ekifo ky’omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Kisoro kaakomekkerezeddwa nga NRM enyiga biwundu oluvannyuma lw’omukyala Grace Akifeza Ngabirano, gwe bamma tiketi okukawuuta obuva.
Akifeza 52, yafunye obululu 50,459 n’amegga bataano (5) okuli n’owa NRM Rose Kabagyeni gwe yasinzizza obululu 5,477.
Akifeza nga munna NRM, eyasalawo okwesimbawo ku bwannamunigina oluvannyuma lw’okuwangulwa mu kamyufu k’ekibiina, yalangiriddwa akulira ebyokulonda e Kisoro,
Daniel Nayebare.
Yaddiriddwa Kabagyeni eyafunye obululu 44,982, bye bitundu 45.8 ku 100. Owa NUP Zubedi Sultana Salim yakutte kyakusatu n’obululu 903 n’addirirwa Mable Ingabire owa UPC ku bululu 362, Juliet Musanase owa FDC yakutte kyakutaano n’obululu 193 ate Aisha Cympaye owa PPP n’akoobera ku bululu 157.
Ekifo kino kyasigala kikalu oluvannyuma lw’okufa kw’eyakirimu era eyali Minisita omubeezi ow’ebyokwerinda, Sarah Mateke Nyirabashitsi mu September w’omwaka
guno.