Amawulire

Mukomye okunyoomoola emirimu gy'emikono - mmeeya Mugambe

Mmeeya w’e Nakawa, Paul Mugambe asabye abantu okukomya okunyooma n’okwogerera emirimu gy’emikono amafuukuule kubanga abantu bangi kwe bayimiridde nga kiyambyeko n’okukendeeza ku bbula ly’emirimu mu bantu.

Mukomye okunyoomoola emirimu gy'emikono - mmeeya Mugambe
By: Huzaima Kaweesa, Journalists @New Vision

Mmeeya w’e Nakawa, Paul Mugambe asabye abantu okukomya okunyooma n’okwogerera emirimu gy’emikono amafuukuule kubanga abantu bangi kwe bayimiridde nga kiyambyeko n’okukendeeza ku bbula ly’emirimu mu bantu.

Mmeeya Mugambe N'abamu Ku Bajaguza Abaatikkiddwa

Mmeeya Mugambe N'abamu Ku Bajaguza Abaatikkiddwa

Mugambe bino abyogedde bw’abadde yeetabye ku mukolo kwe batikkiridde aayizi abasoba mu 100 mu Nakawa mu mirimu gy’emikono nga bayita mu ntekateeka gye batuumye Kampala Girls Cluster.

Bano babatendese okufumba, okukola enviiri, okutunga, okulima, okusiba enviri n’emirala. Mugambe ategeezezza nti kya nnaku nnyo okulaba nga abantu abamu bakyayogerera emirimu gy’emikono amafukuule nga beerabidde nti eggwanga kati kwe lisinze okuyimirira.

Awadde eky’okulabirako eky’omuntu akuguse mu mirimu nga okusiba enviiri, okutunga n’emirala nti omuntu oyo tasobola kusula njala kubanga buli ssaawa abeerako n’emirimu gye bamuwa okukola mw’ajja ensimbi ezimubeezaawo.

Abakyala N'abawala Nga Bajaganya Oluvannyuma Lw'okukuguka Mu Mirimu Gy'emikono.

Abakyala N'abawala Nga Bajaganya Oluvannyuma Lw'okukuguka Mu Mirimu Gy'emikono.

Ayongeddeko nti omuntu asomye emirimu gino abeera tatawaana na kunoonya mirimu wabula asobola okukozesa abalala nga kino kiyambako mu kukendeeza ebbula ly’emirimu mu ggwanga wamu n’okukendeeza ku mize gy’obumenyi bw’amateeka.

Asabye abazadde okweggyamu endowooza nti omwana bw’asoma eby’emikono tabeera wa mugaso n’ategeeza nti ekyo kibeera kikyamu.

Awabudde abantu abaliko bye baasoma mu bibiina okubeerako n’emirimu emirala egy’emikono gye bakola kubanga kiyambako ssinga guli gutaataagana.

 Asabye abatikkiddwa okutandika n’ekitono kye baluina bagaziwe mpolampola. Betty Nannyonga omu ku batendese abayizi bano abasiimye nnyo olw’obugumiikiriza.

Asabye Gavumenti okuvaayo etunule mu nsonga ezisoomooza abawala bongere n’okubawagira mu ngeri ezitali zimu.vAsabye abawala n’abakyala obutetuulako wabula basitukiremu bakole.

Tags:
Mugambe
Mirimu
Mikono
Kusaba