Abantu abawera 13 be bakwatiddwa ku bigambibwa nti bazze babulankanya ssente za Parish Development Model e Serere, Moroto ne Amudaati.
Kino kiddiridde omukulembeze w'eggwanga, okulagira poliisi okunoonyereza ku bubbi obwetobese mu nkola eno, bwe yabadde atalaaga ekitundu ekyo mu wiiki ewedde.
Mu bakwatiddwa, kuliko abaami ab'emiruka , ab'amagombolola n'abakulembeze ab'enjawulo.Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti e Serere baakakwatayo 8, Amudati 4 ne Moroto. Alabudde abo bonna ababulankanya ssente zino, nti baakukwatibwa , bavunaanibwe.