OMUBAKA Arinaitwe Rwakajara ow'abakozi alangiridde okwesimbawo ku kifo ky'omumyuka wa Ssentebe wa NRM atwala bugwanjuba mu kiseera kino ekirimu minista w'ebyamawulire Chris Baryomunsi.
Lumumba Ng'atambula Ne Rwakajara.
Rwakajara asinzidde mu nsisinkano y'abakulembeze b'ebibiina bya bakozi mu ggwanga wamu n'ababaka ba palamenti abakiikirira abakozi ebadde ku Serena hotel mu Kampala.
Eno bagituddemu okuloopera ababaka baabwe okusoomoozebwa abakozi kwe basanga wamu n'okusala amagezi butya bwe kugonjoola.
Rwakajara ng’akiikirira abakozi mu palamenti akakasizza nga bw’agenda okwesimbawo ku kifo ky'omumyuuka wa Ssentebbe wa NRM atwala bugwanjuba asobole okutuusa eddoboozi lya bakozi mu lukiiko lwa NRM olw'okuntikko.
Olukiiko Olwatudde
Agambye nti ebimu ku by’ataddeko essira kwe kulwanyisa obuli bw'enguzi mu ofiisi za gavumenti, obutasasula bakozi, n'ebizibu ebirala abakozi bye basanga nga byonna agamba ajja kwanguyirwa okubigonjoola ng’ali mu lukiiko lwa NRM olw'oku ntikko.
Rwakajara asembeddwa omubaka akiikirira abakozi Richard Namanya okuva mu ttundu lya Bunyoro, Sulaiman Wasswa omuwandiisi ku lukiiko olutwala abakozi mu kibiina kya NRM e Butambala, ne Dr Joseph Tindyebwa.
Wabula, Justine Kasule Lumumba abadde omugenyi omukulu mu nsisinkano yaabwe, bano abawadde amagezi okukunga bannaabwe beesimbewo mu palamenti basobole okuweza ennamba kino kibayembeko okwanguyirwa okutuusa eddoboozi lyabwe.