Pulezidenti Museveni asabye bannaddiini okukubiriza abagoberezi baabwe okukola enyo balwanyise obwavu
Dec 09, 2024
PULEZIDENTII Museveni asabye bannaddiini okukunga abagoberezi baabwe okunyiikira okukola nga beetaba munteekateeka bza gavumenti n'ezenzikiriza ezigenderera okugoba obwavu...
By Kanyike Samuel
Journalist @New Vision
PULEZIDENTII Museveni asabye bannaddiini okukunga abagoberezi baabwe okunyiikira okukola nga beetaba munteekateeka bza gavumenti n'ezenzikiriza ezigenderera okugoba obwavu...
Bino byabadde mu bubaka bwe yatisse minisita avunaanyizibwa ku masannyalaze n'obugagga obw'omuttaka Dr. Ruth Nankabirwa ku mukolo ekigo kya Nandere bwe kyabadde kijaguza okuweza emyaka 125 bukya kitandikibwawo n'agamba nti obugayaavu kibi kuba ne Kristo gwe basinza yali mubazzi era nga munjiriye yekuusanga nnyo ku kukola, okuwonya abalwadde, abayala, ba kiggala n'abali mu bwetaavu
Yasiimye abaminsani ba white fathers abaatandika ekigo kino ekiyambye okulyoowa emyooyo gy'abantu ne bakyusa empisa nga beewala enguzi, obubbi, ettemu, okutulugunya abaana, okusaddaaka, okutumbula eby'eny'enfuna, eby'enjigiriza n'ebirala. Yabawadde obukadde 20 ..
Katikkiro Charles Peter Mayiga yagambye nti obwakabaka bwa kugenda mu maaso n'okukwatagana ne keleziya okutumbula n'okutuusa empeereza ku bantu
Yagambye emyaka 125 giraga okusajjakula na kuzzukuza n'asaba abantu okukyusa endowooza ..
Omusumba w'essaza lya Kadana Luweero Lawrence Mukasa yagambye nti ekigo ekyatandikibwawo ng'ekiberyeberye mu ssaza kizadde ebirala 21 mu ssaza lino eritwala Luweero, Nakaseke ne Nakasongola...
Bwanamukulu wa Nandere Fr Matiya Jjooga Mulumba yasiomye obwakabaka obwabawa sikweya mayilo ennamba okuli ekigo kino n'agamba bagikozesezza nga basimba emmwanyi, olusuku n'emiti
Ends
Related Articles
No Comment