Katikkiro Mayiga agobye ennyimba za Gravity ne Lil Pazo ku cbsfm ne BBStv
Dec 09, 2024
KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga aweze ennyimba z’abayimbi Gravity Omutujju ne Lil Pazzo ku mikutu gy’Obwakabaka okuli leediyo ya CBS ne BBS ttivvi lwakuba zijjuddemu obuwemu.

NewVision Reporter
@NewVision
KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga aweze ennyimba z’abayimbi Gravity Omutujju ne Lil Pazzo ku mikutu gy’Obwakabaka okuli leediyo ya CBS ne BBS ttivvi lwakuba zijjuddemu obuwemu.
Mayiga yeebuzizza lwaki omuntu alina ekitone ky’okuyimba,ava ku ky’okukuza ebitone ate n’adda mu kwogera n’okuyimba ebyesisiwaza,okusonyiwaza n’okubeesitaza.
Fred Sebatta ne Katikkiro Mayiga mu Bulange e Mengo
Gravity ng’erinnya ye Geresom Wabuyu ayimbye ennyimba nnyingi ezizze ziwemula okuli okwepicca,embuzi zakutudde,amasanyu ga bbulangiti,embaga ya Isma ne Amina n’endala ate Lil Pazo ng’erinnya lye ye Yasin Mukasa omwaka guno yafulumizza oluyimba oluyitibwa enkudi.
“Waliwo omuyimbi bamuyita Geresom Wabuyu yeyita Gravity Omutujju,simulabangako nze okuggyako ku ttivvi. Lwaki ayimba ezo ennyimba eziwemula abantu. Kati ovudde mu kukuza ekitone ozze mu kwesisiwaza abantu n’okubeesitaza era ekiruubirirwa kiki, kufuna ttutumu,” Mayiga bweyebuuzizza.
Okwogera bino,Mayiga abadde akyazizza Omuyimbi Lord Fred Ssebatta e Bulange-Mmengo ng’ono yazze okumubulira enteekateeka z’ekivvulu kye, kye kyatuumye ’42 of Lord Fred Ssebatta’ ekigenda okubeerawo nga December 13,2024 ku Serena Hotel mu Kampala.
Ssebatta amwogeddeko ng’eky’okulabirako nti singa yali atambulira mu nkola ya kuwemula,teyandiwezezza myaka 40 mu kuyimba kuba tewali yandibadde amwesembereza!
“Abantu bayinza okukubira enduulu ng’owemmula naye webikoma. Singa Ssebatta yali atuwemula,emyaka 40 egiyise,teri muntu ayinza kumwesembereza. Ate ne bwobeera oyagala kwogera bikusike,osobola okubyogera. Abo abateekwa okubitegera nebabitegera naye nga togambye mwana nti awo vaawo genda,” Mayiga bwagambye.
Ayongedde neyeebuuza nti “Lwaki oyo Gravity Omutujju atuwemmula? Waliwo n’omulala bamuyita Yasin Mukasa yeyita Lil Pazo. Ebintu ebyo babeera bayimba byaaki? Ebintu eby’okuyimba bingi nnyo nnyo. Tulabye abantu wano nga bayimba. Lydia Jazmine oyo simuwulirangako ng’awemula. Naye alina byayimba nendaba oba alina obubaka bwawereeza naye ng’abavubuka bonna babyagala. Lwaki omuntu alowooza nti byonna byayimba,abantu tebajja ku byagala.”
Fred Sebatta ng'ali e Mengo
Mayiga alabudde abakozi ku mikutu gy’Obwakabaka nti yenna anazanya ennyimba zino,yajja okunenyezebwa kubanga eggwanga terisobola kutambulira mu buwemu bwenkana awo!
“Awo nno abayimbi naddala abavubuka mbakubiriza, bwemubeera mwagala okukuza ekitone n’okukiwangalirako, eby’okuwemmula mubiggye mu nkola zammwe era tetwagala kuwulirira ddala nnyimba ezo za buwemu. Oyo Gravity omutujju ennyimba ze saagala kuziwulira,gwe analuzanya gwe nja okunenya kubanga saagala bali ab’ewaffe bambuuze biki ebigenda mu maaso, ye Ssabasajja Kabaka bwankubira essimu, mugamba ntya?,” Mayiga bweyalagidde.
Okuddamu okukubirwa ennyimba ku mikutu gino, Mayiga omupiira yagusizza mu ngalo zaabwe okukyusa baddemu okuyimba ennyimba ezirimu amakulu,ezitawemula wabula ezo ezitumbula eggwanga.
“Naye kiri bbo bwebabeera baagala okukyusa,bakyuse ndowooza nti ebitone babirina naye bapapapapa, baagala ttuttumu ly’amangu,ebitone babirina bagende mpola n’obugumikkiriza,bajja kutuuka ku buwanguzi,” Katikkiro Mayiga bweyagambye.
Ate ku ky’okuzza okuyimba kwaabwe engulu; bave mu nyimba eziwemmula,bayimbe ezitawemula, Mayiga abawadde amagezi okweewa obudde nga bayiiya ennyimba,okwesembereza abaludde mu kuyimba bayige enkola entuufu.
Mayiga atonedde Ssebatta ekitabo kyeyawandiika ekiyitibwa Ettofaali ng’amwebaza olw’okuyimba oluyimba Ettoffaali olumu kweezo ezayamba okukunga abantu okwenyigira mu nteekateeka eno.
Ssebatta awerekeddwako bayimbi banne abawereko okuli Matia,Luyimba,Harriet Nakanwagi Ssanyu,Josephine Nabitaka,Lydia Nabawanuka (amanyiddwa nga Lydia Jazmine), Weseal n’abalala.
No Comment