Gavumenti esuubizza okusembeza eddagala mu malwaliro g’ebyalo

KATIKKIRO wa Uganda, Robina Nabbanja azzizzaamu essuubi abalwadde abatawaanyizibwa endwadde ez’olukonvuba essuubi bw’akakasizza nti Gavumenti yaakwongera ssente mu byobulamu kisobozese eddagala lwabwe okutuusibwa mu malwaliro agatandikirwako

Minista Kasule Lumumba (owookubiri ku ddyo) bwe yabadde akwasibwa ekirabo okuva mu Palliative Care. Asembye ku ddyo ye Dr Ruth Aceng.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

KATIKKIRO wa Uganda, Robina Nabbanja azzizzaamu essuubi abalwadde abatawaanyizibwa endwadde ez’olukonvuba essuubi bw’akakasizza nti Gavumenti yaakwongera ssente mu byobulamu kisobozese eddagala lwabwe okutuusibwa mu malwaliro agatandikirwako. Yawaddeyo obukadde 10 zibayambeko mu bulamu obwa bulijjo. Bino byabadde mu bubaka obwamusomeddwa minisita wa guno na guli Justine Kasule Lumumba ku mukolo ab’ekibiina ekibudaabuda abantu abali mu bulumi ekya Palliative Care Association of Uganda kwe baajagulizza emyaka 25 nga babudaabuda n’okuzzaamu abalwadde essuubi.
Abamu ku balwadde abagwa mu ttuluba lino kuliko aba kookolo, ab’emitima n’endwadde endala enkambwe nga wano minisita Lumumba we yategeerezza nti baagala ekiteeso kiyisibwe mu kabineeti abalwadde bano balabirirwe mu ngeri ey’enjawulo buli lwe baba nga batindizze eng’endo empanvu okugenda ku malwaliro. Minisita w’Ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng yategeezezza nti beebaza Pulezidenti Museveni akoze ekinene okulaba ng’abalwadde nga bano tebalekebwa bbali era eddagala ery’enjawulo erikkakkanya obulumi lizze lireetebwa.
Yasabye abatannakwatibwa bulwadde buno okukolanga dduyiro n’okulya obulungi kuba kiyambako emibiri gyabwe obutalumbibwa ndwadde. Baatongozza ne App okugenda okuyisibwanga obubaka ku ndwadde z’olukunvuba n’engeri y’okujjanjaba abalwadde

Emboozi Ezifanagana