OMUWENDO gw’abakyala abongedde okufuna omugejjo gweyongedde so ng’ate bo abaami bongedde okukenena. Abakyala abasinze okugejja beebo ababeera mu bibuga bw’ogeraageranya ne bannaabwe ab’omu byalo.
Bino bye bimu ku byafulumidde mu lipooti ekwata ku byendya n’endiisa eyakoleddwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga ekya UBOS nga yatongozeddwa minisita owa guno na guli mu ofiisi ya Katikkiro w’eggwanga, Justine Kasule Lumumba mu Kampala.
Lumumba Ng'annyonnyola
Lipooti yalambuludde nti abakyala ebitundu 8.4 ku buli 100 balina omugejjo okusingira ddala ababeera mu bibuga bw’ogeraageranya n’abaami abali ku bitundu 1.5 ku buli 100.
Abakyala abatalina mugejjo naye nga nabo bataddeko omubiri bali ebitundu 18 ku buli 100 so ng’ate abaami bali ebitundu 9.2 nga kino abanoonyereza bakitadde ku ndya.
Lipooti era yalaze nti amaka agabulwa eky'okulya geeyongedde obungi so nga n’omuwendo gw’abaana abakonzibye olw’endya embi gukyali waggulu.
Ku buli maka 10 kuliko amaka 4 agayita mu bugubi okufuna ekyokulya nga wonna okutwaliza awamu amaka ebitundu 46 ku buli 100 ge gayita mu mbeera eno.
Omuwendo gw’abaana abakonzibye guli ebitundu 26 ku buli 100 ng’abalenzi be basingako obungi so ng’ate abaana ebitundu 10.2 ku 100 bawewuka nnyo era omubiri gwabwe mutono nnyo tegweyagaza ng’okusinga abaana bano bali mu bitundu by’e Karamoja, Kigezi, Tooro ne mu Ankole.
Omuwendo gw’abaana abali wansi w’emyaka 5 abatalina musaayi nagwo guli waggulu nga bano bali ebitundu 30.4 ku buli 100 so ng’abakyala nabo abatawaanyizibwa obuzibu buno bali ebitundu 20.7 ku buli 100.
Lumumba yategeezezza nti baakwongeramu amaanyi mu kukubiriza abantu okwenyigira mu by’obulimi n’obuteetundako mmere wabula basigazengawo ey’okuliisa ab’omu maka gaabwe.
Ekirala baakuteeka essira mu kusomesa abakyala ku bwetaavu bw’okuyonsa abaana naddala abasomyeko abataagala kuyonsa nga bagamba nti kukuluusanya amabeera gaabwe ne gafuuka sitookisi.