REHEMAH Nakiwala ne Dickson Matovu ab’e Lukaya baasitukidde mu ttu ly’ebirabo eddene ne kavvu wa mitwalo 10 buli omu okuva mu Chapa General Enterprise abamu ku bavujjirira empaka z’okufumba eza Bukedde TV, Bukedde olupapula ne Bukedde Fa Ma Embuutikizi nga bayambibwako aba Uzima Water. Empaka zaabadde ku katale k’emicomo ne gonja aka Road Tall ku lw’e Masaka ng’abafumbi abasoba mu musanvu be beetabyemu era obudde obwabaweereddwa bwagenze okuggwaako nga Matovu awangudde aba chapati ate Nakiwala n’asinga abookya enkoko. Chef Michael Mutale ne Judith Namulema abaasaze empaka zino, baategeezezza nti ebimu ku bye baatunulidde mulimu; obuyonjo,entabula y’ebirungo, enkozesa y’obudde n’ebirala. Dorah Namala yeebazizza Bannalukaya ne Kalungu yonna okutwaliza awamu olw’omukwano gwe balaga Bukedde TV n’emikutu gya Vision Group emirala n’abasuubiza nti enteekateeka nnyingi zikyajja. Hajji Yasin Kazibwe owa Chapa Enterprise yakubirizza abantu okwongera okugula ebikozesebwa bya Nara ne Prestige nti basobole okutangaaza emikisa gy’okwewangulira ebirabo n’okulinnya ebbaati bagende balambule Kenya.