Kyabazinga ajaguzza akabaga Inhebantu n'acamula abantuKyabazinga
Dec 17, 2024
KYABAZINGA wa Busoga, William Gabula Nadiope IV ajaguzza amazaalibwa ge ag’omulundi ogwa 36 ku kabaga Inebantu kw'alabikidde ng'aliko akanyiro akalese Bannayuganda naddala Abasoga nga basanyufu bya nsusso.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
KYABAZINGA wa Busoga, William Gabula Nadiope IV ajaguzza amazaalibwa ge ag’omulundi ogwa 36 ku kabaga Inebantu kw'alabikidde ng'aliko akanyiro akalese Bannayuganda naddala Abasoga nga basanyufu bya nsusso.
Gabula yabadde anyumidde mu ssuuti ezirugavu n'essaati enjeru ate Inhebantu ng'ayambadde ekiteeteeyi eky’emikolo ekiddugavu ekyabaddemu obutimba ku mikono n’anyuma okukamala abamu ne batandika okwekuba obwama nti, "Inebantu alinamu ettu!"
Gwe gwabadde omulundi ogusooka Inhebantu okwetaba ku mukolo ogw’amazaalibwa ga Kyabazinga mu lubiri bukya bagattibwa mu bufumbo obutukuvu.
Abagenyi abayite nabo baayambadde ne banyuma mu misono egy'enjawulo ng'abasajja baayambadde amakooti n'ekkanzu ate abalala ssuuti ate bo abakazi ne bambala gomesi ate abalala ebiteeteeyi by'emikolo.
Mu kwogera kwe, Kyabazinga yasiimye ebitongole eby'enjawulo ebikolera mu Busoga olw’okwenyigira mu nkulaakulana okuli ebyenjigiriza, ebyobulamu, ebyobusuubuzi n’ebyemizannyo.
Yasiimye aba ffamire ye n’abazadde ba Inhebantu abeetabye ku kabaga olw’okumubuuliriranga ne Inhebantu Jovia Mutesi ku ngeri gye bateekwa okutambuzaamu bufumbo bwabwe.
Oluvannyuma Kyabazinga yeegattiddwaako Inhebantu ne basala keeki gye baagabudde abagenyi baabwe.
Abamu ku bayimbi b'omu Busoga okwabadde Rachael Monique ne Tina Baiby baasanyusizza abagenyi baabwe nga bayita mu nnyimba eziwaana Busoga.
Abeetabye ku kabaga kwabaddeko, omumyuka asooka owa Katikkiro wa Uganda, Rebecca Alitwala Kadaga, minisita wa guno na guli mu ofiisi ya Katikkiro, Justine Lumumba Kasule, omuwandiisi w’enkalakkalira owa minisitule y’ekikula ky’abantu Aggrey Kibenge n'abalala
No Comment