ABAKRISTAAYO mu kkanisa y'omutukuvu Lukka e Bulamu, bayise kkwaaya y'Abadiventi eya Hilteg okuva e Najjanankumbi, n'erya mu ndago wakati nga bwe basonda ssente z'okuggala ekkanisa gye bali mu kuzimba.
Ekkanisa eno baatandiika okuzimba mu mwaka gwa 1995 nga kati etuuse ku mutendera gw'okuggalwa oluvannyuma lw'okumaliriza okugisereka.
Basoose n'okusaba okwakulembeddwa Rev. Ven. Fredrick Kironde Ssempijja, Ssaabadinkoni w'obusaabadinkoni bwa Busimbi, mu bulabirizi bw'e Mityana, n'atendereza obumu obwayoleseddwa Abakulisitaayo okuyita Abadiventi okwetaba nabo mu kusaba okwawamu ate nga kwakusonderako ssente ez'okuggala Yeekaalu ya Mukama.

Ven.kironde Ng'ali Mu Kifanaanyi Ekyawamu N'abadiventi.(moses Nyanzi)
Kuno kwe yakkatiririzza n'obukulu bw'ebika, n'asambajja eby'ogerwa abantu nti omuntu bw'akkiririza mu kikakye aba ali mu Sitaani, n'abasaba okwenyumiriza mu bika byabwe n'obuwangwa bwabwe naddala nga bakola emirimu gya Mukama nti kuba ebika buwangwa bwaffe so ssi Sitaani nti kuba ne Yesu gwe bagoberera yalina ekika.
Okusonda ssente kuno kwakoleddwa nga basinziira mu bika, era nga kino Ven. kwe yasinzidde n'abakuutira, okukola nga tebeenyooma, yadde okwekubagiza, nti kuba baleeta obulamu obujjuvu eri ekkanisa na buli wantu we babeera nga bayita mu mpagi omusanvu okuli; okukkirizza, famire, eby'enfuna, okubeera abalamu, enkwatagana n'abantu abalala, okusoma, n'obuwangwa ze yagambye nti nkulu nnyo mu bulamu bw'omuntu.

Kkwaaya Ya Hiteg Ng'erya Mu Ndago.
Akulira eby'enkulakulana, n'okuzimba Daniel Katende, yagambye nti nga bayita mu bika baalonda ababikulira mu Kkanisa era nga be bakoze omulimu ogw'okunoonya ssente mu bika byabwe okusobozesa omulimu gw'okuggala ekkanisa okugenda mu maaso, era nga basaawo okuwakanira engabo n'ekimeeme w'embuzi ebinaaweebwa ekika ekinaasinga okuwaayo.
Yagambye nti beetaaga obukadde 45 mu kiseera kino okumaliriza okuggalawo, ne yeebaza abawaddeyo okusobola okulaba ng'omulimu gugenda maaso.

Ekkanisa y'e Bulamu gye bali mu kugala.
Katende yagasseeko nti baze bakozesa enkola ez'enjawulo omuli n'ey'omugenyi ow'enjawulo nga gonna makubo gaakunoonya nsimbi okuzimbira Mukama Yeekaalu ye.
Baakung'aanyiza obukadde obusoba mu mwenda nga abeddira obutiko be baasinze okuwaayo ku Mulundi guno n'obukadde obusoba mu busatu.