OMUSUMBA w'ekkanisa ya Miracle Center Cathedral e Lubaga, Robert Kayanja, asabye bannabyabufuzi okwenyigira mu by'obufuzi by'ekisajjakikulu awatali kuvumagana ssinga Uganda yaakufuna enkulaakulana ey'omuggundu.

Pr Kayanja Ng'asabira Abakkiriza.
Yasabye n'abasuubirwa okulondebwa okwanjula enteekateeka zaabwe eri abantu olwo bo basalewo gwe banaalonda awatali kubakaka n'asaba abalonzi nabo okukuba ttooci mu bannabyabufuzi abalimbalimba.
Enjiri ye, yagyesigamizza ku mirembe Yesu Kristo gye yaleeta mu nsi n'asaba abakkirizza okumulabirako okukola ebirungi.
Kayanja yasabye abalokole okuyiga okukola okweggya mu bwavu n'awa n'ekirowoozo ky'okwegatta batandikewo bbanka y'okwewolamu ssente ezitaliiko magoba ng'awa eky'okulabirako kya bbanka y'Obusiraamu wabula yagambye nti baakukituukako ssinga basooka kusomesebwa.