Amawulire

Abaana boolesezza ebitone mu mpaka za Reminac Rising Star Kids

Abaana abali wakati w’emyaka 5-13 abaasobye mu 80 baayolesezza ebitone n’obuyiiya mu mpaka za Reminac Rising Star Kids Awards nga zino zaayindidde ku Parachichi restaurant e  Bukoto mu Kampala.

Abaana nga booleesa ekitone ky'okuzina
By: Ritah Mukasa, Journalists @New Vision

Abaana abali wakati w’emyaka 5-13 abaasobye mu 80 baayolesezza ebitone n’obuyiiya mu mpaka za Reminac Rising Star Kids Awards nga zino zaayindidde ku Parachichi restaurant e  Bukoto mu Kampala.

Bano baavudde mu masomero n’ebitongole ebyenjawulo era n’abazadde abaasobye mu 300 baabaddewo okubawagira.

Abaana nga balaga engule ezibaweereddwa

Abaana nga balaga engule ezibaweereddwa

Empaka zino zaabaddemu ebbugumu kubanga abaazeetabyemu bonna baabadde balungi era abalamuzi baasanze akaseera akazibu okubasunsulamu mu mitendera 26 mwe baabadde.

Okukkakkana ng’abawanguzi babolonze nga basinziira ku mpisa, obukozi n’okwetuma.

Bano kwabaddeko; abayimbi Rania ne Roshni abaawangudde ‘Best Singer Award’.  Ye Kerita Nabukenya yawangudde ‘Most Creative and Multi skilled apprentice’ olw’okuleebya banne mu kwolesa emisono n’okwogera obulungi. Nabukenya era ye ambasada wa ‘Little Miss Earth’.

Abalala kuliko; Mark Sydney Mutungi eyawangudde ekya ‘Best Sportsman Award’ ng’ono  munnabizinensi era munnabyamizannyo ng’alina ne satifikeeti y’ekitongole ky’omupiira ekya Confederation of African Football (CAF).

Abaana nga balaga engule ezibaweereddwa

Abaana nga balaga engule ezibaweereddwa

Ate Bridget Brianna Namata, yawangudde ekya ‘Best Model’.

Empaka zigendererwamu okutumbula ebitone mu baana naddala mu byemizannyo, katemba, okuyimba n’okwolesa emisono.

Abategesi; Cranimer Katula ne Rodney Kiggundu bakozesa ‘art’ okukuza ttalanta z’abaana naddala abo abatalina mwasirizi. Katula ye ddayirekita wa Reminac comics, Reminac national writing competition ne Reminac TV ate Kiggundu ‘visual artist’ era ng’ayamba nnyo n’abantu abatalina mwasirizi.  Bano baayambiddwako Elevate Children’s Foundation.

Okuva mu 2017, Katula ne Kiggundu bayamba abaana mu bitundu ebyenjawulo nga bayita mu bitongole by’obwannakyewa okuli; Faces up Uganda, the Ghetto Film project ne Streetlights Uganda. Babayigiriza okuzannya katemba, okusiiga ebifaananyi, okuwandiika n’okusoma.

“Tufuba nnyo okutumbula ebitone mu baana basobole okubikozesa okwetandikirawo emirimu,” Kiggundu bw’agamba.

Era bagguddewo n’essomero ly’ebitone erya Reminac Kids Academy okusomesa abaana okuwandiika, okutandikawo bizinensi, okutunga n’okwolesa emisono, okwogera ku mikolo n’okukola ebyemikono ebyenjawulo. Bajjanja kusoma mu luwummula.