SENGA KULANAMA Nabakooza wamu ne bbaawe Ssaabakabona Jumba Aligawesa Bannayuganda omwaka wakati mu kusindogoma gwe Ngoma nga basanyuka okuyingira omwaka.
Entujjo eno yabade ku kyalo Kirowoza e Mukono Senga Kulanama ne Jjumba bwebayingiza nnamungi wa abantu mu kumalako omwaka gwa 2024 wakati mu Ssanyu .
Omukolo guno gwetabiddwaako abantu bangi abenzikiriiza y’obuwangwa ne nnono nga kino bakikoze okutumbula obuwangwa bwabwe n'ennono okusinziira ku Aligaweesa .

Abantu abazze abazze wa Aligaweesa Ssaabakabona mu bikujjuko by'okumalako omwaka
Sabakabona Jjumba yagambye nti kino akikola buli mwaka ng’amaze okuyita mu kisiibo okusobola okusabira abantu be ab’enzikiriiza y’obuwangwa n'ennono.
Jjumba yasabidde abakkiriza be nga bwabanaaza ekyogero n’okubasiiga omuzigo n’okubawa emikisa egibayingiza mu mwaka 2025 era yabakuutidde okukolaganira awamu nga ab’obuwangwa ne nnono , okwagalana n’okusonyiwagana nga abantu n’okwagalana ennyo ennono yaabwe n’okusabira ennyo Kabaka Ronald Muwenda Mutebi okuwangaala.
Yagabudde abantu emmere ne ebyokunywa ne ebyokusanyuka ebirala byabadde bingi ,yakutiide abantu okwagaala ennono yaabwe n’abasaba okubeera obumu nabagaliiza omwaka 2025 gubeere ogw’emirembe nabakutiira n’kukola ennyo