Amawulire

Ebbeeyi y'amasannyalaze esse

GAVUMENTI erangiride okukendera kw'ebbeeyi y'amasanyalaze mu ggwanga okutuuka ku bitundu 5.2% bwogeraageranya n'ebitundu 6.1% omwaka oguwedde.

Dr Ruth Nankabirwa ng'ayoera eri bannamawulire
By: Jaliat Namuwaya and Jaliat Namuwaya, Journalists @New Vision
GAVUMENTI erangiride okukendera kw'ebbeeyi y'amasanyalaze mu ggwanga okutuuka ku bitundu 5.2% bwogeraageranya n'ebitundu 6.1% omwaka oguwedde.
 
Unit y'amasannyalaze agakozesebwa ewaka Kati egula 775.7 okuva ku 796.4 so nga ate unit ezisooka 15 nga osasude amasanyalaze zisigadde zigula ssente enusu 250 buli emu  kyokka ag'okufumbisa Unit eziri wakati wa 81 ne 150 zigula ssente 412 buli emu .
 
Amasanyalaze aga bizinesi unit Kati eggula 575.2 okuva ku nusu 599.9 ,ab'amakolero amatono ttono Unit Kati eggula 417.8 okuva ku nusu 448.0 ate bo ab'amakolero amanene Unit ekide ddala okuva ku ssente 378.6 okutuuka ku 351.5 olwo bo abalina amakolero gabwagugga Unit kati eggula 299.1. 
Dr Ruth Nankabirwa oluvannyuma lw'okwogera ne bannamawulire

Dr Ruth Nankabirwa oluvannyuma lw'okwogera ne bannamawulire

 
Bweyabadde alangirira enkyukakyuka zino nga asinzira ku media centre mu Kampala,minista ow'ebyamasanyalaze n'obugagga obw'omuttaka Dr Ruth Nankabirwa yannyonyode nti okukendera kw'ebbeeyi eno kuvudde kubungi bw'amabibbiro g'amasanyalaze gavumenti gezimbye negekyali mukuzimba nga kw'otadde n'obungi bw'abantu abagokozesa .
 
Yagambye nti gavumenti okukendeeza ssente z'amasanyalaze yefiriza ssente obuwumbi 155 nga buno ebwerekereza kulw'obulungi bwa bannayuganda.
 
" Ab'amakolero gyemukoma okukozesa amasanyalaze amangi n'ebbeeyi gyegenda okukoma okukendera " 
 
Ssentebe w'olukiiko olufuzi olw'ekitongole Ky'amasanyalaze ekya ERA , Dr Sarah Wasagali yategezezza n'ebbeeyi y'amasanyalaze g'ebitongole ne ministule za gavumenti bagisiza era bagya kugotera nga ku ebbeeyi ya wansi ddala okuli amalwaliro, amasomero, amakomera n'ebirala.
 
Enkyukakyuka eno etandikidewo bunambiro okutuuka mu March 2025 .
 
Webunatukira mu 2030 baagala buli omu abeere nga ayaka
 
 
Tags: