Poliisi efunzizza Pallaso gye yeekukumye ku by'okulumba Alien Skin

POLIISI emaze ennaku ttaano ng’eyigga Pallaso olw’okulumba amaka ga Alien Skin n’ayonoona emmotoka ze n’ebintu ebirala, kyaddaaki emufunzizza e Ntebe gye yeekukumye.

Poliisi efunzizza Pallaso gye yeekukumye ku by'okulumba Alien Skin
By Josephat Sseguya
Journalists @New Vision
#Amawulire #Alien Skin #Pallaso #Kwekukuma #Kufuuza

POLIISI emaze ennaku ttaano ng’eyigga Pallaso olw’okulumba amaka ga Alien Skin n’ayonoona emmotoka ze n’ebintu ebirala, kyaddaaki emufunzizza e Ntebe gye yeekukumye.

Pallaso amannya amatuufu, Pius Mayanja bamufeffetta olw’okulumba Alien Skin ku Lwokuna emisana n’akubaakuba emmotoka ze ttaano n’azaasa kwe yagasse okwonoona amadirisa g’ennyumba ye e Makindye mu Kizungu.

Alien Skin gwe baayokyerezza mmotoka.

Alien Skin gwe baayokyerezza mmotoka.

Alien Skin eyabuukidde mu ddirisa ne yeewogoma ekibabu kya Pallaso eyalumbye ‘n’eggaali’ kabiriiti ng’ekutte ebissi okuli emiggo n’ebirala olw’okusuubira nti ne Alien yalinayo ‘eggaali’ ey’amaanyi mu maka ge.

Wabula Alien yeekweka n’ayita poliisi wabula we yatuukira nga Pallaso n’ekibinja kye (eggaali) babuzeewo.

Mu kusooka, omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeeza nga poliisi bw’enoonya Pallaso kyokka n’okutuuka ku wiikendi yabadde akyababuze okuggulwako emisango.

Alien Skin Mu Vidiyo Y'oluyimba Lwe Olupya Lwe Yatuumye Talent. Emabega ye mmotoka gye baayonoonye.

Alien Skin Mu Vidiyo Y'oluyimba Lwe Olupya Lwe Yatuumye Talent. Emabega ye mmotoka gye baayonoonye.

Eggulo amawulire gaasaasaanye nti ali bweru wa ggwanga gye yagenze okuyimba, kyokka Bukedde yakikakasizza nti eky’okugenda ebweru w’eggwanga si kituufu bwe yakubidde Pallaso ssimu n’agikwata ng'omusasi aliko by'amubuuza ku bigenda mu maaso kyokka n’addamu nti, essaawa eno yayimirizza okwogera ne bannamawulire olw’ebigenda mu maaso ajja kuddamu gye bujja.

Olwo amawulire gaabadde gongedde okusaasaana nti waliwo amaka agamu gye yeekukumyemu e Ntebe. Essimu ye nayo egira n’evaako ate n’eddako.

Eggulo, Bukedde yazzeemu n’abuuza Onyango poliisi w’etuuse ku by’okukwata Pallaso n’agamba nti, akyababuze tebamanyi na mayitire ge.

Pallaso anoonyezebwa.

Pallaso anoonyezebwa.

Bwe twalabye Onyango bimuwanvuyeeko, Bukedde yakubidde mukama we Kituma Rusoke, omwogezi wa poliisi mu ggwanga eyategeezezza nti, ng’oggyeeko eky’okuba nti ennaku zino zonna banoonyezza Pallaso, tebalina kinene kye baafunyeewo kuba ababuze.

Bwe yabuuziddwa ku bigambibwa nti ali Ntebe gye yeekukumye era bamufunzizza, yazzeemu nti ekyo tebagenda kukyogerako ssaawa eno kuba tebalina kinene kye bafunyeewo. Kituma era yazzeemu okulabula bapulomoota okukoma ku bayimbi baabwe okukola effujjo mu bivvulu ne mu bifo ebirala.

Ku Lwokutaano bapulomoota baakung’aanye ku Sheraton ne bayisa ekiteeso ekiwera Alien Skin ne Pallaso mu bivvulu byabwe.

Ssaabavvulu Balaam Barugahara nga ye minisita w’abavubuka n’abaana kyokka nga ku luno yategeezezza nti tayogera nga minisita wabula nga akulira bapulomoota, mu lukiiko olwo yakkaanyizza ne banne okuwera abayimbi abo era n’agamba nti takyaddamu kubategeka okumala emyezi mukaaga.

Obuzibu obuli mu kiragiro kya bapulomoota, waliwo ate bapulomoota abalala babiri abategese okukola ekivvulu kya ‘battle’ wakati w’abayimbi abo singa Pallaso anaaba avudde gye yeekwese n’amala emisango gye.

Wano era we wali obuzibu mu bapulomoota kuba era omwaka oguwedde baawera obutaddamu kutegeka Gravity Omutujju ne Lil Pazo olw’ennyimba zaabwe eziwemula naye ate waliwo abaabategese mu nnaku enkulu.