Katikkiro Mayiga abuuzizza abayimbi kiki ekibalwanya kyebatasobola kugonjoola

Jan 07, 2025

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde abayimbi amagezi okukomya effujjo ekintu kyagambye nti Kijja kwonoona omulimu gwabwe. 

NewVision Reporter
@NewVision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde abayimbi amagezi okukomya effujjo ekintu kyagambye nti Kijja kwonoona omulimu gwabwe. 

Mayiga agamba nti effujjo lijja kutiisa abantu okujja mu bivvulu bwatyo n'awa amagezi abayimbi abali mu kulwanagana okuli Patrick Mulwana amanyiddwa nga Alien Skin ne Pius Mayanja amanyiddwa nga Pallaso okusala amagezi gonna okumalawo obutakkanya buno. 

Okuwabula bwati asinzidde Bulange-Mmengo enkya ya Leero bwabadde akyazizza Omuyimbi Hajjarah Namukwaya amanyiddwa nga Spice Diana neyeebuuza Kiki ekyo ekibalwanya kyebatasobola kugonjoola batuuke n'okwegirayo ebiso. 

Mayiga asinzidde mu nsisinkano n'awa abayimbi amagezi okuteeka essira ku kukuza ekitone kyabwe eky'okuyimba, okuyimba bakutwale ng'omulimu wabula si ng'ekintu ekiri awo kuba ye ayagala okulaba abayimbi ba Uganda ku ddaala ly'ensi yonna. 

Katikkiro ng'asiibula Spice Diana

Katikkiro ng'asiibula Spice Diana


Ku ky'okwekulakulanya, Mayiga, abayimbi abawadde amagezi batuunulire eky'okusiga ensimbi nga mu kkoowe eryo bajja kusobola okukuumiramu ensimbi zaabwe. 

Ye Minisita w'abavubuka, emizannyo n'ebitone mu Buganda, Ssaalongo Robert Sserwanga awadde abayimbi okuyiga okufuga ettuttumu era neyeebaza Namukwaya Ono olw'okwenyigiranga mu buli nteekateeka ya Bwakabaka n'anokkolayo emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka. 
Mu kwogera kwe, Spice Diana yeebazizza Katikkiro Mayiga olw'okuwagiranga Bannabitone era n'amusaba ajje abeerewo mu kivvulu kye ekinabeerawo nga January 10,2025 ku Serena Hotel mu Kampala ekintu, Mayiga kyakkirizza. 

Kwoolwo nga January 10 nga lwe Lwokutaano lwa wiiki,Namukwaya agenda kuba ajjaguza okuweza emyaka 10 mu nsiike y'okuyimba

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});