Ekiri e Kaddugala webagenda okuziika Muhammad Ssegirinnya
Jan 10, 2025
KU kyalo Kaddugala-Butale e Masaka Ssegirinya gyazaalibwa era we bagenda okumuziika we tutukiddewo ku Lwokutaano ng'abatuuze abatonotono n'abakulembeze ku kitundu bakunganye okubudabuda omukadde Maria Girayida Nakanwagi akkuuma ekigya ng'ono abeera Ssenga w'omugenzi.

NewVision Reporter
@NewVision
KU kyalo Kaddugala-Butale e Masaka Ssegirinya gyazaalibwa era we bagenda okumuziika we tutukiddewo ku Lwokutaano ng'abatuuze abatonotono n'abakulembeze ku kitundu bakunganye okubudabuda omukadde Maria Girayida Nakanwagi akkuuma ekigya ng'ono abeera Ssenga w'omugenzi.
Wakati mu maziga ategeezezza nti mmwanyina Peter Ssemaganda Ttaata wa Ssegirinya yafa mu 2008 era wano naye weyazikibwa.
"Nze omu ku baakuza Ssegirinya era mbadde musanyufu nti yavaamu omuntu abadde awaniridde ffamire n'abantu abalala, wabula kya nakku nti atuvudde mangu ku maaso,obulamu bwaffe busanyaladde". byebimu ku bigambo Ssenga Nakanwagi obwedda byategeeza abakungubazi mu nnaku.

Ekiggya Ssegirinya wagenda okuziikibwa
Rose Nalubowa Musajjaakawa eyaliko omumyuka wa Pookino e Buddu omu ku bakulembeze abasangiddwawo agambye nti Ssegirinya byakoze e Kawempe mu bbanga ettono abadde kyakulabirako kirungi eri bannabyabufuzi nti omukulembeze akolera bantu be so si kwogera bwogezi.
Ayongeddeko nti abadde yabasuubiza nti olumala okugussa ebirubirirwa bye mu Kawempe North enkulakulana abadde agenda kugitunuza gy'azaalibwa ng'asokera ku ddwaliro n'essomero ekintu ky'afudde tatukiriza wabula Nalubowa yeyamye okukola ekisoboka nti atuukirize ebisuubizo bino
Related Articles
No Comment