Omuchina atanziddwa obukadde 55 lwa kusangibwa na maliba ga Lugave
Jan 13, 2025
MUNNANSI wa China atanziddwa obukadde 55 lwa kusangibwa na mabaliba g’olugave ssaako ennyama y’engabi nga talina lukusa.

NewVision Reporter
@NewVision
MUNNANSI wa China atanziddwa obukadde 55 lwa kusangibwa na mabaliba g’olugave ssaako ennyama y’engabi nga talina lukusa.
Pan Yi 41, ng'aweereza mu ssemaduuka era kitunzi ng’abeera Ntinda mu munisipaali y'e Nakawa yabadde mu kkooti ey’emisango gy’ebisolo, amazzi n’obutonde bw’ensi n’avunaanibwa emisango ebiri egy’okubeera n’ennyama y’ebisolo nga talina lukusa.
Pan yakkirizza emisango gyonna wabula n’asaba kkooti emuwe ekibonerezo ekisaamusaamu kubanga akkirizza emisango n’atayonoona budde bwa kkooti ssaako ebiseera by’oludda okuleeta abajulizi.
Omuwaabi wa gavumenti Annet Tuheisomwe yasabye omulamuzi Gladys Kamasanyu akalige Pan ekibonerezo ekikakali kubanga ensolo z’omu nsiko zisaanawo .
Omulamuzi Kamasanyu bwe yabadde asalira Pan yagambye nti wakyaliwo obwetaavu okukuuma ensolo z’omu nsiko kubanga kya bulambuzi kya maanyi mu ggwanga omuva ne ssente.
Pan yasangiba n’amaliba g’olugave agaweza kiro 1.6 ,ebigalagamba by’olugave ssaako eddiba ly’omukira gw’olugave ebiweza kiro 9.61 ssaako ennyama y’engabi.
Omulamuzi yagambye nti tewali kisolo kiggyibwako bitundu byakyo ne kisigala nga kiramu n’olwekyo bino byonna byattibwa nga kino kikendeeza ku muwendo gwabyo.
Kamasanyu bw'atyo yalagidde Pan asasule engassi ya bukadde 50 ku misango gy’okubeera n’ebintu by’olugave bw’alemwa asibwe emyaka 10 ate obukadde bukadde ku nnyama y’engabi ,bwalemwa asibwe emyaka etaano mu kkomera.
No Comment