Omusajja avudde mu mbeera n'atemaatema mukyala we wamu n'omusajja omulala ng'abalumiriza okubakwatira mu bwenzi.
Bino bibadde mu Mugongo Cell e Kyengera mu Nsangi, Charles Kaweesa gy'agambibwa okukwatira mukyala we Harriet Nabbosa mu bwenzi n'omusiguze Alex Kimbugwe.
Kigambibwa nti Kaweesa yakomyewo awaka akawungeezi, n'asanga mukyala we, Nabbosa nga taliiwo, kwe kumulondoola n'amusanga mu kazigo ka Kimbugwe nga bali mu kikolwa n'abatemaatema.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, agambye nti Kaweesa yadduse era bamuyigga.